TOP

Bannamawulire be Vision Group bawangudde engule

Added 30th October 2019

Munnamawulire Carol Natukunda ne Ronald Mugabi bawangudde engule oluvannyuma lw'okusinga abalala mu kuwandiika ku nsonga z'obungi bw'abantu

 Carol Natukunda owa Vision Group ng'akwasibwa ceeke ya bukadde mukaaga oluvannyuma lw'okuwangula Bannamawulire , akutte engule ye minisita David Bahati eyabimukwasizza

Carol Natukunda owa Vision Group ng'akwasibwa ceeke ya bukadde mukaaga oluvannyuma lw'okuwangula Bannamawulire , akutte engule ye minisita David Bahati eyabimukwasizza

Bya Olive Lwanga

Nga Bannayuganda tukyali bakkakkamu kubanga tukimanyi nti, mu 2020 Uganda ejja kuba etuuse mu lubu lw'ensi eziri wadde wadde ko kubanga tufubye okulaba nga tulwanyisa endwadde ezitali zimu, okuyamba ku bavubuka okubafunira emirimu nga tuyita mu nteekateeka ya gavumenti eya ‘Youth Skilling' eyatandikibwawo omukulembeze w'eggwanga.

Bino minisita David Bahati yabyogedde atongoza lipooti y'embeera Uganda mw'eri n'ensi yonna ey'obungi bw'abantu eya ‘State of Uganda & State of the World Population Reports.

Yagambye nti, ebyenfuna by'eggwanga byeyongedde okugaziwa okuva ku busiriivu 9.5 ku buli 100 okutuuka ku 128.5 ze bbiriyooni 34, era bw'eneegenda egaziwa tujja kutuuka ku kiruubirirwa kyaffe.

 avid  naye owa ision roup ngakwasibwa engule gye yawangudde olwokuwandiika emboozi eyasinze ku zissibwa ku yintaneeti Ronald Mugabi naye owa Vision Group ng'akwasibwa engule gye yawangudde olw'okuwandiika emboozi eyasinze ku zissibwa ku yintaneeti

 

Yabyogedde ku lwa Katikkiro wa Uganda eyabadde alina okuba omugenyi omukulu. Yagambye nti, mu bimu ku bikoleddwa okulaba nga kino kituukibwako abakadde bafubye okubayamba, abavubuka babafunidde emirimu, abakyala abafa nga baakazaala gusse nga guli 506 ku baana 100,000 mu 1997 okudda ku 336 mu 2016 abazaalibwa era kino kiri bwe kiti kuba okugema abaana mu ggwanga weekuli, abaana abafuna embuto nga tebannaba kwetuuka guli 103/1,000.

Okukendeeza ku muwendo gw'abaana abafa nga baakazaalibwa era kati guli ku 64 ku 1,000.

Omuwendo gw'abafa omusujja gw'ensiri kati guli ku 9.3 ku buli 1,000 kubanga gavumenti yafuba okugaba obutimba bw'ensiri okwetooloola eggwanga.

Omuwendo gw'abasoma gulinnye okuva ku bukadde busatu mu 1997 okutuuka ku bukadde munaana mu 2016.

Okuva lwe baatandika Bonna basome wa pulayimale n'owa siniya (UPE ne USE) wamu n'enkola y'okuwa abavubuka obukugu obutali bumu.

Ssentebe wa National Population Council, Wabwire Mangeni yagambye nti, ssinga gavumenti eyongera okuteeka ssente mu bavubuka kubanga omuwendo gwabwe gwe gusinga obungi ebitundu 78 ku 100 ate bali wansi w'emyaka 30 ne bafuna obukugu obutali bumu kijja kuyambako.

 inisita ahati ngatongoza lipooti ya ational opulation ouncil eya he state of ganda  tate of the orld opulation report u ddyo ye ssentebe wa  abwire angeni mu ampala Minisita Bahati ng'atongoza lipooti ya National Population Council eya 'The state of Uganda & State of the World Population report'. Ku ddyo ye, ssentebe wa NPC Wabwire Mangeni mu Kampala.

 

Omuwendo gw'abantu ogusinga gwesigamye ku balala tebasobola kwebeezaawo ate n'obwavu mu byalo bukyaliyo.

Wabula ssinga gavumenti eyongera okuteeka ssente mu byenjigiriza, ebyobulamu n'okulaba ng'abavubuka be bafuuka yingini y'eggwanga awo tujja kuba tutuuka ku biruubirirwa byaffe ebya 2020.

Ku mukolo gwe gumu bannamawulire abaasinga bannaabwe mu kuwandiika emboozi ezikwatagana ku bungi bw'abantu baasimiddwa. Ng'eyasinze yafunye 6,000,000/- n'olugendo okugenda okwetaba mu lukung'aana lw'obungi bw'abantu e Nairobi olwa ‘ICPD'era nga yabadde wa Vision Group, Carol Natukunda n'abalala abaawangudde ttivvi n'ebirabo ebirala.

Bino byabadde ku wooteeri ya Sheraton mu Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...