TOP

Omusuubuzi afudde n'olubuto lwa myezi 7 n'asattiza ekyalo

Added 4th November 2019

Omukyala afudde n'olubuto ku myezi musanvu asobedde abatuuze oluvannyuma lw'abasawo okulemwa okuzuula ekimuluma.

 Abamu ku baana b'omugenzi Nakagolo

Abamu ku baana b'omugenzi Nakagolo

Bya Madinah Sebyala
Abasuubuzi mu katale k'e Nakawa n'abatuuze b'e Kabembe bali mu kiyongobero oluvannyuma lwa mutuuze munnaabwe okusangibwa ng'afiiridde mu nju n'olubuto lwa myezi musanvu ekibaleetedde okusigala nga beebuuza ebibuuzo bingi. 
 mugenzi akagolo bwabadde afaanana Omugenzi Nakagolo bw'abadde afaanana

 

Fatuma Nakagolo 47, gwe baakazaako erya maama Mariam abadde mutuuze w'e Kabembe mu Gombolola y'e Kyampisi mu Disitulikiti y'e Mukono era abadde musuubuzi wa birime mu katale k'e Nakawa ye yafudde n'olubuto lwa myezi musanvu nga kigambibwa nti, yandiba ng'omwana yamusambye omutima n'afa.
Muwala w'omugenzi owookubiri, Laziya Ssuuba yategeezezza Bukedde nti olubuto nyina lw'abadde nalwo lubadde lwa mwana wa 10.
Yannyonnyodde nti, ennaku ssatu emabega nnyina yafuna Puleesa oluvannyuma lw'okusanga enkoko enfu ng'esuuliddwa mu mulyango gwe ku makya ekyamweraliikiriza.
 uwala womugenzi ngakungaanya amabugo ga nnyina Muwala w'omugenzi Lazia Ssuuba ng'akung'aanya amabugo ga nnyina

 

Yaddusibwa mu ddwaaliro e Naggalama gye baamukeberera obulwadde ne bubuka n'asiibulwa n'adda eka wabula n'atabuka ne bamwongerayo e Nsambya nayo gye baamusiibula nga tebalaba bulwadde n'adda eka kyokka ku ssaawa 10 ez'oku makya n'assa omukka ogw'enkomerero.
Omugenzi alese bba Tonny Katende n'abaana abato ng'asembayo wa myaka ebiri era yaziikiddwa mu Disitulikiti y'e Mayuge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...