TOP

Emigso 6 gy'ofuna mu kulya enseenene

Added 5th November 2019

Omusawo alaga ensonga 6 lwaki olina okulya enseenene

 Omusuubuzi (ku ddyo) ng'aguza kasitoma enseenene

Omusuubuzi (ku ddyo) ng'aguza kasitoma enseenene

Bya Sauyah Namwanje

Omwezi gwa November buli lwe gutuuka, omuntu nga tannalowooza nti omwaka guweddeko asooka kulowooza ku nseenene. 

Enseenene olw'obuwoomi bwazo zibeera ku buseere era wabaawo ez'ebyoya n'enkongole eziwedde okusiika ne z'osobola okutwala ne weesiikira oba okufumbako n'olya oba okukaza n'okolamu ensaano gy'oliira mu nva naddala ebinyeebwa. 

Enseenene zino zirimu Vitamiini A, B ne C, zirimu ekirungo ekizimba omubiri okusinga ekiri mu byennyanja era zirimu ekiriisa ekyongera amaanyi mu mubiri. 

 mukyala omukadde ngakongola enseenene Omukyala omukadde ng'akongola enseenene

 

Dr. Yusuf Mwinike ow'eddwaaliro ekkulu e Mulago agamba nti, enseenene nnungi kubanga zirimu, ebirungo eby'enjawulo eby'omugaso eri emibiri gyaffe, okuli: 

1. Ebirungo ebiyambako okutangira okuggwaamu omusaayi. 

2. Ebiyamba mu kuzimba obutoffaali bw'omubiri. 

3. Ebiyambako okucamusa obwongo bw'omuntu. 

 nseenene nga zikyali nnamu Enseenene nga zikyali nnamu

 

4. Zirimu ebirungo ebitangira okukaddiwa amangu omuntu n'atafuna nkanyanya. 

5. Ebirungo ebiyamba okukuuma amannyo n'amagumba nga magumu. 

6. Mu bakyala abali embuto zibayambako okuwona okulumizibwa omugongo.

Dr. Mwinike agamba nti, si kirungi omuntu okulya enseenene nga mbisi kubanga zisobola okuvaako endwadde endala.  Ensawo ey'enseenene kati esuubulwa 30,000/- ng'osobola okuzifunako amagoba agali wakati wa 20,000/- ne 40,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...