TOP

Lwaki abakyala abalina akawuka bafunira embuto ku nkola za famire?

Added 6th November 2019

Ebivaako abakyala abalina akawuka ka siriimu okufuna embuto nga bali ku nkola za famire

 Vastha Kibirige amanyiddwa nga 'Maama kondomu' okuva mu Minisitule y'ebyobulamu ng'asomesa ku nkozesa ya kondomu y'abakyala.

Vastha Kibirige amanyiddwa nga 'Maama kondomu' okuva mu Minisitule y'ebyobulamu ng'asomesa ku nkozesa ya kondomu y'abakyala.

Bya Ruth Nazziwa

Lwaki abakyala abalina akawuka bafunira embuto ku nkola za famire?

Omukugu mu kukebera n'okubudaabuda abalina akawuka ka siriimu ku Taso e Ntebe, Pamela Irene Nakato annyonnyola nti, abakyala abafunye embuto nga bali ku nkola ya famire kituufu gyebali wabula ebiseera ebisinga omubisi gw'omubiri guba gugaanye okukolagana n'eddagala lya ARV naddala abakozesa enkola ya kapiso ey'omu mukono.

Eddagala ery'akawuka oluusi lisinza amaanyi eddagala eriri mu kapiso ekivaako omukazi ali ku nkola eno okugifunirako olubuto.

Bw'ofuna obuzibu buno ebiseera ebisinga tekikwetaagisa kuggyamu mwana oyo kubanga eddagala eryo terimukosa.

Naye olw'okuba obuzibu buno weebuli, abakyala abalina akawuka tubasomesa enkola za famire endala ze tulina ne tubakyusiza oba ne beesalirawo gye baagala okukozesa.

Mu ngeri y'emu, bw'obeera ku nkola ya famire era tukukubiriza n'okukozesa kondomu kikusobozese okufuna obukuumi obusingawo nga bwe weeyongera okumira eddagala eriweweeza ku kawuka.

Kubanga bw'oba olimira bulungi akawuka ne keebaka, tolwalalwala ate obeera tosiiga mulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...