
Omusajja nga yeekebeza
Bya Ruth Nazziwa
Ndi mulamu naye lwaki buli lwe mbeera olubuto bankaka okwekebeza siriimu?
Omukugu mu kukebera n'okubudaabuda abalina akawuka ka siriimu ku Taso e Ntebe, Pamela Irene Nakato annyonnyola nti, bw'ofuna olubuto, olina okwekebeza akawuka ka siriimu omulundi ogusooka ng'ogenze mu ddwaaliro okunywa eddagala wamu ne balo kubanga kibayamba okumanya obulamu bwammwe bwe buyimiridde ku nsonga z'akawuka ekiyamba okumanya engeri y'okutaasa omwana ssinga obeera okalina.
Bw'omala okutegeera nti, olina akawuka kikukakatako okutandika eddagala okusobola okutaasa obulamu bw'omwana ali mu lubuto, kikusobozese obutamusiiga kawuka n'endwadde z'ekikaba omuli kabootongo, obulwadde bw'ekibumba (Hepatitis B), enziku n'endala.
Jjukira maama bw'aba alina akawuka, emikisa gy'okukasiiga omwana gibeera waggulu naddala ng'omwana akyali mu lubuto, ng'ozaala oba ng'oyonsa ssinga tomira bulungi ddagala.