TOP

Okukola dduyiro kukosa alina akawuka ka siriimu?

Added 7th November 2019

Dduyiro ayamba alina akawuka ka siriimu okubeera omulamu obulungi.

 Abamu ku bali mu kibiina ky'abakozi b'omu butale nga bakumba mu kujaguza olunaku lwa siriimu omwaka oguwedde

Abamu ku bali mu kibiina ky'abakozi b'omu butale nga bakumba mu kujaguza olunaku lwa siriimu omwaka oguwedde

Bya Ruth Nazziwa

Bwe mba nnina akawuka ka siriimu, nsobola okukola dduyiro ne mbeera ‘fiiti'?

Omukugu mu kukebera n'okubudaabuda abalina akawuka ka siriimu ku Taso e Ntebe, Pamela Irene Nakato annyonnyola nti, okubeera n'akawuka ka siriimu tekikumalaako ddembe era tekikulemesa kukola by'oyagala kasita obeera ng'omira bulungi eddagala lyo n'okwerabirira obulungi ng'omusawo bw'abeera akulagidde mu budde obutayosa.

Ate ng'omuntu yenna okubeera omulamu obulungi ng'omubiri gweyagala, olina okuba ng'okola dduyiro kubanga ayambako okuzuukusa obusimu bw'omubiri n'emisuwa okutambuza omusaayi.

Obusimu bwe buzuukuka n'emisuwa ogugguka kiyambako omubiri okufulumya obutwa bwonna naddala obuva mu ddagala ly'omira.

Era bw'oba tosobola kukola dduyiro ow'amaanyi, waakiri tambula otuuyane kisobozese omubiri okufulumya ku butwa. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...