TOP

Ab'e Kangulumira bafunye obujjanjabi obw'obwereere

Added 13th November 2019

E Kangulumira bennyamivu olw’abasawo ababasaba ssente okubakolako ku ddwaaliro lya Gavumenti

 Omu ku basawo ng'akebera amaaso g'omulwadde eyazze mu lusiisira

Omu ku basawo ng'akebera amaaso g'omulwadde eyazze mu lusiisira

Bya Joanita Nakatte

Abatuuze b'e Kangulumira mu disitulikiti y'e Kayunga abasobye mu 1,000 bakung'aanidde ku ddwaaliro ly'e Kangulumira Health Centre IV okwefunira obujjanjabi obw'obwereere okuva mu bazirakisa aba House of Zakati ne Strive for Janah Foundation.

 bamu ku bantu abazze okufuna obujjanjabi obwobwereere ku ddwaaliro e angulumira Abamu ku bantu abazze okufuna obujjanjabi obw'obwereere ku ddwaaliro e Kangulumira

 

Bano baakozesezza omukisa guno ne babaloopera okusoomoozebwa kwe basanga okufuna obujjanjabi mwe baategeerezza nti, ebiseera ebisinga bajja ku ddwaaliro okujjanjabwa kyokka  bwe bamala okubakebera ne bakabatema nga bwe watali ddagala nga n'oluusi abasawo babazza ebbali ne babasaba ensimbi kyokka nga lya Gavumenti.

"Tulina obuzibu bw'okufuna obujjanjabi ku kyalo kyaffe naddala abamu ku ffe abatalina nsimbi zimala kubwetuusaako, ate era tusaba gavumenti enoonyereze ku basawo abatusaba ssente ng'ate eddwaaliro lya gavumenti.

mwogezi wolusiisira lwebyobulamu olwakubiddwa sma uwada ngaliko byannyonnyola ku byakoleddwaOmwogezi w'olusiisira lw'ebyobulamu olwakubiddwa, Isma Muwada ng'aliko by'annyonnyola ku byakoleddwa.

 

Tusaba etwongere ne ku ddagala erituweebwa kubanga ttono teritumala," abatuuze bwe baagambye.   Ssekamwa w'olusiisira lw'ebyobulamu luno, Isma Muwada yategeezezza nga bwe bagaba obujjanjabi buno buli mwaka n'omulamwa gw'okuyamba abo abateesobola kubwetuusaako wadde okwebuuza ku basawo nga kino bakikola mu nkola ey'obwannakyewa.

"Kino tukikola mu ngeri ey'okuyamba n'okudduukirira abantu nga bano abatalina busobozi. Tukizudde nti, abantu bano basinga kutawaanyizibwa ndwadde ey'amaaso era tugenda kubajjanjaba tubawe ne gaalubindi basobole okulaba obulungi," Muwada bwe yagambye.

 ajjati ibowa owa ouse of akat abaategese obujjanjabi obwobwereere Hajjati Faridah Kibowa owa House of Zakati abaategese obujjanjabi obw'obwereere

 

Omusawo Abdallah Teituk, omu ku baakulembeddemu enteekateeka eno yagambye nti, bajjanjabye era ne bakebera endwadde omuli kookolo, amagumba, omusujja, amannyo wabula era naye n'akkaatiriza ku bulwadde bw'amaaso obweriisa enkuuli awatali kutaliza muto na mukulu.

Hajjati Faridah Kibowa, okuva mu House of Zakati yennyamidde olw'obulwadde bw'amaaso obusinze okwekaaliisiza mu bantu b'e Kayunga n'asuubiza okulondoola ensonga eno okuzuula obuzibu kwe buva, kyokka n'alaga essanyu olwa bannakyewa bano okuvaayo ne badduukirira abantu b'e Kangulumira kubanga bangi tebalina busobozi bwa kwejjanjabisa naddala abakadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza Mutale ng'aliko byannyonnyola.

Enkwe za bamanisita ze ziwa...

MAJ. Kakooza Mutale awabudde Pulezidenti Museveni ku nsonga ezaamuwanguzza mu Buganda n'awakanya abakissa ku busosoze...

Balumirizza Cameroon eddogo

KATEMBA yalabikidde mu mpaka za CHAN eziyindira mu ggwanga lya Cameroon, omutendesi wa Zimbabwe, Zdravko Logarusic...

Pasita Musisi n’abazannyi ba Busiro abaasoose mu kkanisa ye e Kaggala, Wakiso ku Ssande.

'Ababaka mulwanirire emizan...

PASITA Paul Musisi, akulira ekkanisa ya Caring Heart Ministries e Kaggala mu Wakiso adduukiridde ttiimu y’essaza...

Abavubuka ba Yellow Power.

Aba Yellow Power baagala Ka...

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power mu NRM, nga bano bakola gwa kukunga bantu, baagala Ssaabawandiisi  w'ekibiina...

Omuteebi wa Busiro, Usama Arafat ng’asindirira ennyanda ku ggoolo ya Kyaggwe gye yawangula 2-1 mu gy’ebibinja. Eggulo, Busiro yakubye Mawogola 1-0 eggulo okwesogga semi.

Busiro ne Bulemeezi ziri ku...

BULEMEEZI ne Busiro zifungizza okuwangula ekikopo ky'omupiira eky'Amasaza ga Buganda. Bulemeezi yatimpudde Busujju...