TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Abakugu balaze engeri y'okulwanyisaamu akawuka ka Corona Virus mu Uganda

Abakugu balaze engeri y'okulwanyisaamu akawuka ka Corona Virus mu Uganda

Added 12th March 2020

Abakugu balaze engeri y'okulwanyisaamu akawuka ka Corona Virus mu Uganda

 Dr. Pontiano Kaleebu, akulira ekitongole kya uvri ekikola okunoonyereza ku ssennyiga.

Dr. Pontiano Kaleebu, akulira ekitongole kya uvri ekikola okunoonyereza ku ssennyiga.

OMUWENDO gw'abantu abalwala ssennyiga w'e China owa Coronavirus (Covid-19) mu nsi yonna gweyongera buli lukya olw'ebbula ly'eddagala erisobola okulwanyisa obulwadde buno.

Amawanga agasoba mu 100 galina abalwadde ba ssennyiga ono naye nga gye yatandikira mu ggwanga lya China n'okutuusa kati tebannafuna ddagala lijjanjaba bulwadde buno wadde nga balina eddagala erimukkakkanya era n'awonera ddala.

Mu Uganda, ekitongole kya Uganda Virus Research Institute (UVRI) e Ntebe kye kivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku buwuka obuleeta endwadde ez'enjawulo n'engeri gye tuyinza okubulwanyisa.

ssennyiga wa bika bingi Dr. Pontiano Kaleebu, akulira ekitongole kya UVRI yategeezezza nti, ssennyiga alimu ebika era buli muntu amukwata kyokka amuyisa bubwe okusinziira ku maanyi g'omubiri gwe.

Waliwo ssennyiga akwata ebisolo eby'enjawulo n'abiyisa bubi era bw'abeera akutte ku ffaamu y'omulunzi ayinza okufiirwa ebisolo bingi. Naye n'ebisolo waliwo ebibeera birina obusobozi mu mubiri okulwanyisa ssennyiga ono n'awona.

Emyaka egyayita waliwo ssennyiga eyava mu hhamiya mu nsi za buwalabu gwe bayita MARS eyatta omuwendo gw'ebisolo n'abantu abawera naye yakkakkanyizibwa 

Abakugu ba Uganda bavuddeyo okumulwanyisa abakugu n'aggwaawo. N'omulala baali bamuyita SARS nga naye yatta abantu bangi naye nga yenna kyazuulibwa nti, yali ava mu bisolo.

EKY 'ENJAW ULO SSE nNYIGA W'E CHINA KY 'ALINA

Waliwo ssennyiga abaddewo okumala ebbanga nga tulina eddagala mu malwaliro erimukkakkanya ng'akutte omuntu. Amulina abeera asobola okumusiiga omulala naddala nga waliwo bye bakozesa awamu oba ng'abeera kumpi n'abantu.

Bw'obeera omulina osigaza obulamu bwo kubanga tosobola kufa ne bw'abeera mungi olw'eddagala lye bakuwa mu ddwaaliro erisobola okukkakkanya akawuka n'otereera. Ssennyiga w'e China ekimufuula ow'enjawulo kiri nti, bw'aba akukutte anafuya omubiri gwo oluvannyuma n'otandika okuziyira.

Ekiziyiro kino ky'ekisinze okutta abantu be tuwulidde bafa kubanga akendeeza ku mukka gw'ossa okutuusa lw'aziba emimiro, y'ensonga lwaki batugamba okubikka omumwa n'ennyindo.

Ssennyiga ono asaasaanira ku misinde gya waggulu, alina akawuka bw'abeera tannakimanya buli w'akwata n'omulala n'akwatawo ebiseera ebisinga avaawo nako naddala nga yasoose kunyiza okukwatawo.

Ssennyiga ono atta mangu era omulwadde tasobola kusukka wiiki bbiri (ennaku 14) ng'a amulina. Bw'omufuna n'otofuna buyambi ku kiziyiro ky'oba ofunye yeeyongera okukuziba emimiro n'akutta.

Ssennyiga ono akwata abantu bonna, omweru n'omuddugavu, omuto n'omukulu naye asinga kuyisa bubi bantu abakulu abali mu myaka 50 n'okudda waggulu kubanga emibiri gyabwe gibeera gitandise okunafuwa nga tegikyasobola kulwanyisa kawuka ak'amaanyi.

Mu bantu be tuwulira abafa mu China n'amawanga amalala, bwe weekenneenya ekibalo ky'ekitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization (WHO), abavubuka n'abaana abato batono abafudde olw'ensonga nti, emibiri gyabwe gikyalina amaanyi okulwanyisa akawuka kano era babeera n'emikisa mingi okuwona.

OBUJJANJABI John Kayiwa, akola mu labalatole mu kitongole kya UVRI yategeezezza nti, ssennyiga oba obuwuka bwonna tewali ddagala libujjanjaba kuwona, wabula obumu waliwo eddagala eribuweweeza mu malwaliro ageetoolodde mu ggwanga nga bwe kakukwata olimira ne kakkakkana.

Kino tekiri mu bantu bokka wabula n'ebisolo. Eddagala eririwo erikkakkanya ssennyiga abaddewo okumala ebbanga terisobola kukola ku ssennyiga wa Coronavirus COVID 19 kubanga wa maanyi nnyo era atambulira ku misinde mingi.

Omuntu amufunye bw'abeera azuuliddwa alina okuteekebwa mu kifo yekka era tulina amalwaliro abiri okuli Entebbe Grade ‘B' ne Naggulu ageeteegese okukola ku balwadde. Ekisingira ddala obukulu ku mulwadde wa ssennyiga ono kumuwa bujjanjabi obumuyamba okussa obulungi era asobola okuwona amangu bw'abeera talina ndwadde ndala ng'akawuka ka siriimu n'eddala.

UGANDA YEETEGESE Engeri Ssennyiga gy'aluddewo waliwo ekyuma ekiruddewo mu ggwanga nga kikebera ebika bya ssennyiga ebibeera bizuuliddwa mu bantu n'ebisolo. Naye Coronavirus - COVID 19bwe yazuuliddwa, eggwanga lya China lyakwatagana n'ekitongole kya WHO ne bawa Uganda ekyuma ekikebera ssennyiga ono.

Waliwo ekibinja ky'abasawo abatendeke ku kisaawe e Ntebe abeekenneenya abo abateeberezebwa okubeera ne ssennyiga ono era baggyako ebipimo ne bitwalibwa okukeberebwa, oluvannyuma ne bitwalibwa ku minisitule y'ebyobulamu n'esalawo bateebweokudda eka naye babakubiriza okubeera bokka.

Balina abantu abaddamu okubakeberako nga wayiseewo akabanga okulaba nga tebalina kiraga kyonna nti, bayinza okufuna ssennyiga ono oluvannyuma. Ssinga wabaawo okuzuula omuntu yenna nti, alina ssennyiga ono nga mugwira bajja kumuwa eddembe lye ng'omulwadde okwesalirawo oba ajjanjabibwa wano oba okuzzibwayo mu nsi ye.

Bw'abeera Munnayuganda, ajja kufunirwa ekifo gye bamukuumira nga bw'afuna obujjanjabi okutuusa lw'awona era amangu ddala minisita ajja kutegeeza eggwanga nti, ssennyiga atuuse abantu bongere okubeera obulindaala.

BW'OTANGIRA SSENNYIGA W'E CHINA

Buli muntu alina okwekuuma okulaba ng'atangira ssennyiga ono okumukwata.

1 Weewale okukwata mu ngalo z'abantu kubanga akawuka katambuliramu nnyo.

2 Weewale okukwata ku bintu ebingi kubanga tomanya abaasoose okubikwatako oba balamu oba balwadde.

3 Weewale okukwatirira omumwa n'ennyindo yo kubanga bye bisinga okukwatibwa amangu ssennyiga ono.

4 Bw'obeera olwadde oba ng'olina gw'omanyi nti, amufunye mukubirize okugenda amangu mu ddwaaliro okufuna obuyambi okutaasa obulamu bwe n'obw'abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Okulonda e Kawempe kutambud...

ENKUBA yatataganyizza okulonda e Kawempe ekyawalirizza okusengula ebikozesebwa okulonda okubiteeka mu bifo ebirala...

Mulyannyama n'abawagizi be ng'ava okulonda.

Obuwanguzi bundi mu ttaano ...

Mmeeya wa Makindye, Al Hajji Ali Kasirye Nganda Mulyannyama amaze okweronda ku kifo ky'obwa mmeeya. Mulyannyama...

Arsenal yeeyazise Martin Od...

Ng’abawagizi ba Arsenal bakyebuuza oba Dani Ceballos abagasseeko bukya bamufuna mu Real Madrid ku looni, omutendesi...

Abazannyi bana bafiiridde m...

BANNABYAMIZANNYO b’omu Brazil bali mu ntiisa olw’abazannyi 4 ne pulezidenti wa ttiimu abatokomokedde mu kabenje...

Lampard

Lampard bamufuumudde ku gw'...

Omugagga wa Chelsea, Roman Abramovich afuumudde Frank Lampard ku butendesi n’amusikiza Thomas Tuchel eyagobwa mu...