TOP

Ebiviirako okulwala ensigo nga tomanyi

Added 12th March 2020

Ebiviirako okulwala ensigo nga tomanyi

 Omulwadde w’ensigo ali ku kyuma ekimukyusa omusaayi.

Omulwadde w’ensigo ali ku kyuma ekimukyusa omusaayi.

MU  kiseera kino, obulwadde bw'ensigo bweyongede okweriisa enkuuli mu bannayuganda olw'omuwendo gw'abantu abafuna obulwadde bwa sukaali, puleesa, omusujja ogw'amaanyi n'abalina omuze gw'okwewa eddagala abeeyongera ekivaako ensigo okukosebwa. George Mukalu, ow'e Soroti agamba nti, "Puleesa ne sukaali bye byandwaza ensigo.

Nakizuula nga waliwo bye tulya ne byonoona emibiri gyaffe nga tetumanyi era nze bye byandeetera puleesa ne sukaali ebyakosa ensigo zange. Nagenda okusoma e Bungereza mu 2001 naye mu 2006 bankebera nga nnina obulwadde bw'ensigo. Nalwawo okukkiriza naye embeera ne yeeyongera okusereba oluvannyuma lw'emyaka ebiri ne batandika okunzijanjaba.

Mu ggwanga eryo, bwe bakizuula n'obulwadde bw'ensigo otandikirawo obujjanjabi bw'okwoza omusaayi, bakuweerako ne ssente z'entambula okusobola okukusikiriza okujjumbira okwejjanjabisa. Kyantwalira emyezi munaana nga sifuuyisa kubanga ekyuma bwe kiba kisengejja omusaayi, ebicaafu byonna mwe bigendera.

Omusawo yansomesa ku bulwadde buno n'antegeeza nti obujjanjabi bwe nali ntandise tebutegeeza kuwona era nalina okufuna omuntu ampe ensigo okusobola okutereera. Ekirungi, bo balina enkola nti, bwe kizuulibwa ng'ensigo zo ndwadde bakuteeka ku lukalala lw'abeetaaga okuwa ensigo.

Era babeera n'olukalala lw'abalindiride okuwaayo ensigo zaawe eri abazeetaaga. Oba bwe wabaawo omulwadde agenda okufa naye ng'ensigo ze nnamu, bw'afa bazimuggyamu ne baziterekera abazeetaaga.

Omukisa gwankwata ne nfuna ensigo ekwatagana n'omubiri gwange mu 2015 ne bampita mu ddwaaliro gye banzijanjabira ne baginteekamu. Nakomawo mu Uganda mu 2019 ate oluvannyuma ne nkizuula ng'ensigo empya gye banteekamu nayo efudde.

Omubiri gwatandika obuteeyagala bulungi, puleesa yaddamu okulinnya ne sukaali, omubiri nga munafu n'ebirala. Bahhamba nti, saagirabirira bulungi kubanga waliwo eddagala ly'olina okubeerako lye saafuna olw'obufunda bw'ensawo. Buli mpeke yali egula wakati wa 8,000/- ne 9,000/- kyokka ng'olunaku nnina okumira empeke ttaano nga kwe ngatta ebika ebirala ng'omugatte mmira empeke 13. Bw'otolimira bulungi oba n'omira ng'oyosaamu, ensigo efa.

Mu kiseera kino ndi ku bujjanjabi bw'okwoza mu musaayi (dialysis) okusobola okubeerawo. Obujjanjabi buno mbusaasaanyizaako 250,000/- nga kuliko okunjoza mu musaayi, ebikozesebwa n'eddagala.

Okusoomoozebwa kwe nfuna kwa kuva Soroti okujja mu ddwaaliro e Kiruddu emirundi ebiri mu wiiki. Olugendo luwanvu ekisinga okunkooya."

BAZE YALWALA ENSIGO LWA KUKYUSAKYUSA DDAGALA

"Baze yalwalanga omusujja gw'omu byenda ng'amira eddagala lingi ate ng'ali ku ARV. Wabula waliwo ebiseera we baalikyusiriza ennyo nga buli lwe baleeta eddagala eppya, ly'abaddeko balimuggyako, kye ndowooza nti, awo we waava obuzibu. Yasooka kusumagiranga buli kiseera ng'awulira ne kammunguluze era bwe baamukebera ng'ensigo ndwadde mu 2018 ne batusindika mu ddwaaliro e Nsambya n'atandika obujjanjabi.

Mu mwezi gwomusanvu, baatandika okumwoza omusaayi n'eddagala lye yali amira ne baliyimiriza ne bamukyusizaamu eddala ly'aliko. Tusasula 60,000/- eza Gavumenti nga mu wiiki bamwoza emirundi ebiri naye nga byonna tubisasaanyizaako 150,000/- buli wiiki.

Alinawo enjawulo okuva lwe yatandika obujjanjabi buno era bwe tuddayo, abeera asobola okukola emirimu gye kuba makanika," Betty N bw'agamba.

OBULWADDE BW'ENSIGO BUSINGA KUKOSA BAKUZE

Dr. Daniel Kiggundu, omukugu mu kujjanjaba ensigo akola mu kitongole ekijjanjaba ensigo mu ddwaaliro lya Kiruddu National Refferal Hospital agamba nti, obulwadde bw'ensigo businga kutawaanya bantu bakulu.

Ku bano kw'ogatta abatawaanyizibwa puleesa, sukaali, abantu abamira eddagala buli kiseera ng'abalina akawuka ka siriimu n'abalala era bano balina okwekebeza ensigo buli mwaka oba ng'omusawo bw'aba akulagidde.

kw 'olabira alwadde ensigo

l Okuzuukuka ng'ozimbye amaaso.

l Omusulo okukendeera oba okugaana okufuluma wadde gukuluma ate bw'ofuuyisa gubaako ekyovu.

l Okubabuukirirwa omusulo ng'ofuka n'okulumizibwa.

l Oyinza okuggwaamu omusaayi, okusesema, okunafuwa mu mubiri ekiraga obucaafu obwetuumye mu mubiri.

l Okusiiyibwa n'okusiiwuuka olususu.

l Okuzimba ebigere, amagulu, mu maaso n'ebitundu ebirala.

l Okulumwa omutwe olw'obucaafu mu mubiri.

EBIRWAZA ENSIGO

1 Obulwadde: Dr. Charles Kabugo, akulira eddwaaliro lya Kiruddu National Refferal Hospital agamba nti, obulwadde omuli; sukaali, puleesa, omusujja ogw'amaanyi, okwewa eddagala eritwaliramu n'ery'ekinnansi oba erikkakkanya obulumi bye bikyasinze okukosa ensigo.

Endwadde ezivaako omubiri okukala n'ebivaamu, nabyo birwaza ensigo. Muno mulimu; okusesema, okuddukana n'okuvaamu omusaayi omungi ekikaza omubiri.

Jjukira omusaayi gwe gutambuza ebirungo ebiriikiriza ensigo era ssinga omubiri gukala, ensigo tezifuna biriisa ekizikosa sinakindi n'okufa.

2 Obuwuka mu musaayi: Obuwuka bwe buyitirira mu musaayi nabwo buyinza okulwaza ensigo.

3 Enkozesa y'eddagala embi: Eddagala lyonna bw'olikozesa obubi naddala ng'omize eriyitiridde lifuuka butwa mu mubiri ekikosa ensigo.

Obujjanjabi bw 'ensigo Dr. Kabugo agamba nti, obujjanjabi bw'abalwadde b'ensigo bwetaaga amazzi n'amasannyalaze bingi nga bw'ogattako ebikozesebwa ebirala kyetaagisa Gavumenti eyongere ku ssente z'ewaayo okuyambako kuba n'abalwadde b'ensigo beeyongera obungi.

Agamba nti, bajjanjaba abalwadde abasoba mu 100 nga bali ku bujjanjabi bw'okwozebwa omusaayi ku byuma 17 nga buli muntu akolebwako okumala esaawa ssatu oba nnya emirundi ebiri mu wiiki. Era eddwaaliro lisaasaanya 300,000/- buli lwoza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...