TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Enzijanjaba ezikoze seddwa ensi ez'enjawulo ku balwadde ssennyiga omukambwe

Enzijanjaba ezikoze seddwa ensi ez'enjawulo ku balwadde ssennyiga omukambwe

Added 19th March 2020

SSENNYIGA omukambwe asattizza ensi kubanga asaasaanidde amawanga ag’enjawulo. Asse abantu bangi kyokka n’abasimattuse weebali kubanga si buli gwe kikwata nti, afiirawo.

 Abasawo bakubiriza abantu okunaaba mu ngalo ne sabbuuni buli kiseera okwerinda ssennyiga omukambwe.

Abasawo bakubiriza abantu okunaaba mu ngalo ne sabbuuni buli kiseera okwerinda ssennyiga omukambwe.

 

Abakugu bakola ekisoboka okulaba nga bazuula eddagala okuwonya oba okugema obulwadde buno.

Newankubadde nga mu kiseera kino tebannaba kuzuula ddagala eribuwonya, waliwo abakozesezza eddagala erisangiddwaawo ne libayambako okubuweweeza ng'omubiri bwe gubulwanyisa.

Embeera egenda kutwala ebbanga eritali ggere okuzuula eddagala eriwonyeza ddala ssennyiga ono ow'omutawaana, ekitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna gwe kyayita COVID-19.

Abakugu bannyonnyola nti, omuntu afunye ssennyiga ono asooka kukala mimiro n'okumukolokoota, afuna ekikololo ekikalu, afuna omusujja n'okufuna ssennyina akulukuta ow'okunyiza n'ekiddirira kuziyira nga takyassa bulungi olw'amawuggwe okujjamu amazzi.

Amawanga ag'enjawulo gazze gajjanjaba abantu abafunye obulwadde buno ne bassuuka era waliwo essuubi nti, busoboka okuwonyezebwa omuntu n'addawo bulungi n'abeera mulamu wabula ng'abasinga bajjanjaba bubonero ng'omusujja, okunafuwa kw'omubiri, amawuggwe okujjamu amazzi n'ebirala.

 basawo mu hina nga bajjanjaba abalwadde ba ssennyiga omukambwe Abasawo mu China nga bajjanjaba abalwadde ba ssennyiga omukambwe.

 

AMAWANGA AGAJJANJABYE ABANTU NE BAWONA BAKIKOZE BATYA? Ekisookera ddala ng'omuntu azuuliddwa nti, alina akawuka basooka kumwawula ku bantu abalala bonna n'ateekebwa mu kifo ekyeyawudde.

Abantu abamu abazze bafuna ekirwadde bavuddeyo ne bannyonnyola ku ngeri gye basobola okukozesa eddagala eririwo nga baligasseeko eddala ne basobola okusimattuka ekirwadde kino: CHINA Ssennyiga ono yatandikira China mu December w'omwaka oguwedde (2019) ng'amawanga amalala galaba ng'agali obulungi.

Abamu ku baakwatibwa bafudde kyokka n'abawonyezeddwa weebali. Bano beeyambisizza eddagala ery'enjawulo okuyambako okujjanjaba abalwadde.

Eddagala lya Remdesivir: Abakugu mu kunoonyereza bakizudde nti, eddagala lino newankubadde lyakolebwa kujjanjaba Ebola, lisobola bulungi okukozesebwa okuyambako mu kujjanjaba afunye ssennyiga ono ne limuwonya.

Chloroquine: Lino ddagala eryakolebwa okujjanjaba omusujja era abantu babadde balijjanjabisa okumala emyaka 70 kyokka abakugu abali mu kunoonyereza bakizudde nti, bw'okozesa eddagala lino liyamba kinene mu kujjanjaba akawuka ka SARSCoV- 2 akamu ku buvaako okuwa Coronavirus amaanyi.

Abakugu tebannaba kuvaayo kulangirira mu lujjudde kyokka bategeeza nti, bamaze okugezesa eddagala lino ku bantu 10 abafunye obulwadde ne batereera. 

Kuno bagasseeko okukozesa eddagala lyabwe ery'ekinnansi kyokka bwe batuuka ku mutendera guno olwo ebitundu by'ensi ebirala babeera babirese mabega kubanga limanyiddwa Bachina bokka be balirima n'okulyetabulira. 

Favilavir: Eddagala ekika kino lyakolebwa kujjanjaba abalina akawuka ka siriimu nga liwonya amabwa mu nnyindo n'emimiro.

Abachina baaligezesezza ku bantu 70 ne batereera era abakugu bagamba nti, newankubadde tebannaba kufulumya byavudde mu kunoonyereza kuno mu butongole, essuubi weeriri nti, abantu baawonyezeddwa.

APN01 nga baligasse ne IIT nalyo bali mu kuligezesa ku balwadde abalina obulwadde bwa ssennyiga omukambwe.

Eddagala lino okusooka lyakolebwa nga lijjanjaba ndwadde za mu mawuggwe. Akawuka akaleeta ssennyiga ono koonoona emimiro n'amawuggwe omuntu n'afuna obuzibu mu kussa era kisobola bulungi okuvaako okufa.

Kale bwe babeera bakozesezza eddagala lino okumujjanjaba lisobola okuyambako okuziyiza oba okuwonya ebitundu by'omubiri ebyo bye kandibadde kakosa.

Ekiseera kino bali mu kuligezesa ku bantu 24 nga baggyako 12 ne babawa ekika kya APN01 abalala 12 ne babawa ekika kya ‘placebo' (omutali ddagala).

Ebivaamu bwe bibeera ebirungu nga bongera okuligezesa ku bantu abalala abasingawo.

DOKITA OW'E BUNGEREZA EYAWONYE AKUWA AMAGEZI KU BW'OSOBOLA OKUWONA

Dr. Clare Gerada, 60, ow'e Lambeth, South London baagenze okumukebera wiiki ewedde ng'alina akawuka ka ssennyiga omukambwe! Bwe yasoose okuwulira omubiri nga tegweyagala yasoose kulowooza nti, bwabadde bukoowu oluvannyuma lw'okutambula olugendo oluwanvu ku nnyonyi kubanga yabadde ava mu Amerika.

Kyokka bwe yabadde yaakasimbula okuva e New York mu Amerika ne balangirira embeera ey'akazigizigi ng'ekirwadde kibafunzizza.

Yafunye ekifuba n'atandika okukolola akantu akakalu akatakutuka, yalabye embeera yeeyongera okusajjuka ne yeekebeza mu ddwaaliro eriri okumpi we baamutegeerezza nti, yabadde afunye ssennyiga omukambwe.

Nga yaakatandika okuwulira obubonero yabadde alya naye yamaze ennaku bbiri nga talina ky'ayagala kulya.

Obulwadde bwamukubye ku ndiri nga n'omuliro mungi kuba omubiri gwe gwabadde gwokya nnyo.

Yatandise okumira panado bbiri buli luvannyuma lwa ssaawa munaana, baasazeewo okwawula ebikozesebwa awaka ye ne bba ng'ebintu kwe baliira oba tawulo gye beesiimuuza era omwami teyafunye buzibu newankubadde nga babadde babeera mu nnyumba emu.

Nga wayise ennaku ntono ebbugumu ly'omubiri lyakendedde n'addamu n'okulya ku mmere kyokka ng'asinga kuwuuta ssupu wa nkoko. Teyazzeemu kumira mpeke za panado era bwe yagenze ayongera okuwulira obulungi yasazeewo okufulumako wabweru ng'atadde akakookolo ku nnyindo ne ku mimwa.

Agamba nti, abadde dokita kati emyaka 35 naye talabye bimutiisizza nga ssennyiga ono omukambwe olw'engeri gy'asaasaanamu mu bantu n'okugootaanya ebyenfuna.

SOUTH KOREA 

Lopinavir ne Ritonavir: Eddagala ekika kino lyavumbulwa bakugu nga basinga kuliwa bakyala abali embuto naddala abalina akawuka ka siriimu, libayambako okubongera amaanyi mu mubiri basobole okulwanyisa akawuka kano.

Eddagala lye limu ligezeseddwa ku bantu abafunye akawuka aka Coronavirus. Baaliwa erinnya eddala ne baliyita Kaletra naye nga litegeeza kye kimu ng'ago agasoose waggulu.

Lino baalikozesezza ku musajja wa myaka 54 mu South Korea era baategeezezza nti, yateredde bulungi. Bagamba nti, okusinziira ku kitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization (WHO), eddagala lya Kaletra nga ligattiddwaako ebika ebirala lisobola okujjanjaba obubonero bwa ssennyiga ono.

OMUNTU YEETAAGA DDI OBUJJANJABI OBW'ENGERI ENO?

Okunoonyereza okukoleddwa ku bantu abasimattuse obulwadde buno, abasinga obungi bagamba nti, omuntu asaana okubeera mu mikono gy'abasawo kyokka abakyali abato naddala abavubuka bagamba nti, omusawo bwe yamalanga okubeekebejja ng'akulagira nti, ddayo eka obeere mu kifo ekitatuukibwamu bantu balala okumala ennaku zaakugeredde.

Omuntu ng'emyaka gigenderedde olufuna enkenyera ey'engeri eno osaana okutegeerezaawo abasawo era ssinga obubonero bwongera okuvaamu obulumi olina okwanguwa okugenda mu ddwaaliro ofune obujjanjabi okuva mu bakugu.

AMERIKA

Amerika ssennyiga ono abazinya luguje, waliyo abafudde wabula abasimattuse be basinze obungi. Bannansi ba Amerika abasimattuse kuliko: James Chi 32, ono ye yasooka okuzuulibwa nti, afunye ssennyiga omukambwe mu Ssaza ly'e New Jersey.

Olwamanya nti, afnye akawuka n'atandikirawo okwambala akakookolo ku mimwa n'ennyindo n'atangira okukaasaasaanya.

Kuno yagattako okweyawula ku baana be n'omukyala okumala ekiseera era ne kimuyamba okubeera nti, teyakasiiga bantu ba mu nju ye.

Yatandika okunywa ennyo ebyokunywa ebimuyamba okufuna amaanyi n'amazzi mu mubiri nga bw'amirayo ku ddagala lyatayasanguza n'ayambibwa era akawuka tekaamugonza.

Carl Goodman 67: Ono nnannyini mukutu ogumu ogwa leediyo e California wabula yali ku nnyonyi ne beekengera ng'alina obubonero obufaananako obwa ssennyiga omukambwe. Wano we baamukwatira ne bamukuumira mu kifo kimu okumala ennaku ssatu nga buli lunaku bamukebera okukakasa oba ddala alina akawuka.

Yagambye nti, baamukebera nga bamusonseka obuuma mu nnyindo zombi okumala akaseera okwo ne bagattako okumukebera emimiro okutuusa lwe baakakasa nti, talina kawuka ne balyoka bamukkiriza okweyongerayo.

Kyokka ng'atuuse ku leediyo ye, gye baakizuulira nti, alina akawuka era amaze omwezi mulamba ng'apooca ne ssennyiga.

Ebbanga lyonna omubiri gwe tegulaga bubonero bwa bulwadde wabula bwe bamukebera omubiri bamusangamu akawuka ka Coronavirus.

Elizabeth Schneider, 37: Yali ku kabaga ne banne kyokka ennaku ezaddako ne batandika okufuna obubonero bw'obulwadde nga bufaanagana nga tebamanyi kibatuuseeko.

Yawulira ng'akooye, omubiri munafu, okulumwa omutwe n'okuwulira olusujjasujja. Yagenda okupima ebbugumu ly'omubiri nga liri waggulu okusukka ku lya bulijjo, kuno yagattako okufuna ssennyiga n'amanya nti, akabi kazze.

Abasawo baagenda okubakebera tebaasooka kulabirawo bulwadde kyokka oluvannyuma ne babuzuula.

Baamulagira okusigala awaka ng'alya bulungi n'okunywa ennyo ebintu ebizzaamu amaanyi ng'akozesa eddagala erya bulijjo eriweweeza obulumi kyokka nga teriwonya.

Yawadde abantu amagezi nti, tolina kweraliikirira wabula fuba obeere ng'omubiri gwo mulamu, olina okubeera nga weefaako oleme kufuna ndwadde eziyinza okukugonza olwo omubiri gujja kulwanyisa akawuka bw'obeera olwadde ojja kuwona.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....