TOP

Engeri amalwaliro gye geetegeseemu okulwanyisa ssennyiga omukambwe

Added 19th March 2020

KU bantu abasoba mu bukadde 40 abali mu Uganda, amalwaliro abiri (2) gokka ge gateereddwaawo okujjanjaba abantu abanaabeera bazuuliddwa ne ssennyiga omukambwe (Coronavirus-COVID 19).

 Dr. Emmanuel Batiibwe, akulira eddwaaliro lya Naggulu.

Dr. Emmanuel Batiibwe, akulira eddwaaliro lya Naggulu.

Bw'otuuka ku malwaliro gombi, ekikwaniriza ze taapu z'amazzi agalimu Jiiki atta obuwuka w'olina okunaabira mu ngalo ssaako eddagala erifuuyibwa mu ngalo za buli muntu ayingira eddwaaliro.

Dr. Moses Muwanga, akulira eddwaaliro lya Ntebbe Regional Referral Hospital agamba nti, engeri gye bali okumpi n'ekisaawe ky'ennyonyi eky'e Ntebe baataddewo ttiimu bbiri okuyambako okwekenneenya embeera eno.

Annyonnyola nti, "Ttiimu emu yateereddwa ku kisaawe ky'ennyonyi nga ssinga okeberebwa ng'ova mu nsi okuli; Amerika, China, Bufalansa, Iraq tukusuubira nti, oyinza okubeera ng'oli mu kiseera akawuka we kaalulira nga tekannalabika era oleetebwa mu ddwaaliro ery'e Ntebe.

Ttiimu endala twagitadde mu ddwaaliro ery'e Ntebe era twafunye ekisenge eky'enjawulo ekirimu ebitanda 27 nga mwe tugenda okutuusiza abantu abalina obubonero obwekuusa ku ssennyiga omukambwe.

Kuno twayongeddeko ttiimu y'abasawo abakugu 40 newankubadde nga n'abasawo abalala tugezezzaako okubawa obubaka n'okubangulwa nga ssinga tufuna abalwadde bangi abasawo abo batuyambako.

Ku basawo abo, 20 bokka be balina okubeera mu kisenge nga bano balina omulimu ogw'okwekenneenya omulwadde okumala essaawa 24 olwo ne baggya amalusu okuva mu mumiro ku muntu oyo ge tuweereza mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kwekebejja vayiraasi mu ggwanga ekya Uganda Virus Research Institute (UVRI), era tubeera tusuubira mu ssaawa mukaaga okwekenneenya okwo kubeera kuwedde ne batuddiza amawulire.

Omuntu yenna kasita ayingira mu kibangirizi ekyo akakatibwako okufuuyirwa eddagala ery'enjawulo kubanga tubeera tusuubira nti, byonna by'ozze nabyo birina obuwuka.

Abantu tubakubiriza obutakoowa kunaaba mu ngalo, bakozese eddagala eritta obuwuka era beewale okumala gakwatirira buli wantu.

 r oses uwanga akulira eddwaaliro lya gavumenti erye tebe Dr. Moses Muwanga, akulira eddwaaliro lya gavumenti ery'e Ntebe.

 

TOSIBA KU MIMWA

Omuntu okwesiba akatambaala ku mumwa si kituufu kubanga obuwuka obwa Coronavirus butambulira mu mpewo ne bugwa awantu era omuntu ssinga akolola bugwa awantu.

Gy'okoma okwesiba akatambaala ku mumwa oyinza okukolola n'okabisiwaza ate ng'obuwuka bwagala awantu nga wabisi era bwe bugwako oyinza okubufuna. Kirungi abantu naddala abakolola okwettanira okukozesa ‘Facial masks' kubanga zibaamu obusengejja kyokka nga nayo si nnungi kulwisa ku mumwa n'ennyindo.

Kirungi omuntu alina ssennyiga omukambwe okumubeera miita nga mukaaga.

TUTADDEWO WAADI Y'ABALINA OBUBONERO BWA SSENNYIGA

Dr. Emmanuel Batiibwe, akulira eddwaaliro lya China - Uganda Friendship Hospital e Naggulu agamba nti, buli lunaku bafuna abalwadde abali wakati wa 200 ne 300 era beetegese bulungi naddala ku bantu abasuubirwa nti, balina ssennyiga omukambwe.

Agamba nti, " Ssinga omuntu azuulibwa nti, alina ssennyiga ow'engeri eno baakumuteeka mu kifo eky'enjawulo okutangira okusiiga abalala.

Batunuulira ebifo ebivaamu abantu abangi era ssinga bakwekebejja ng'okolola, olina omusujja, obutawulira bulungi, okufuna ekiziyiro awo bakwawula ku balala.

Ayongerako nti, "Ssinga tufuna abantu abali mu mbeera eyo tubateereddewo waadi ey'enjawulo ng'erimu ebitanda bina (4) okusobola okubaawula ku balala ng'eno bwe tugenda okubekenneenya okukakasa oba ddala balina ssennyiga ono.

Tulina ttiimu ennene ey'abakuguse mu ndabirira ey'abalina obulwadde buno n'okudduukirira amangu ekizibu ekiguddewo.

Dr. Batiibwe ategeeza nti, okusoomooza kwe basinze okusanga kwe kuba nti abantu abasinga balina okutya kungi ku bulwadde buno nga kino kiyinza okutabula embeera nga balowooza nti, tebuwona era nti buli abufuna afa.

Engeri amalwaliro gye geetegeseemu okulwanyisa ssennyiga omukambwe Dr. Emmanuel Batiibwe, akulira eddwaaliro lya Naggulu.

Dr. Moses Muwanga, akulira eddwaaliro lya gavumenti ery'e Ntebe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...