TOP

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa abantu ku bulwadde bwa Corona

Added 27th May 2020

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu. Waliwo abakosebwa ennyo nga tasobola kussa bulungi, afuna okukoowa, tasobola kulinnya madaala n’ebirala.

Obulwadde buno bwe buba bukukosezza nnyo, n'okuwona kulwawo kuba waliwo be kitwalira emyezi nga ebiri okutereera. Naye abasinga naddala mu ggwanga lyaffe wano tebubakosezza nnyo era bangi bawona.

Mutendera ki kw'asinga okukwatira?

Dr. Bruce Kirenga, eyeebuuzibwako mu kujjanjaba endwadde z'amawuggwe era omu ku basawo abajjanjaba ssennyiga omukambwe e Mulago agamba nti ennaku ezisooka ng'omuntu yaakafuna obulwadde buno mw'asinga okusiigira kubanga obuwuka bubeera bungi mu mubiri gwe.

Oluvannyuma lw'ennaku bbiri ku ssatu, omubiri gutandika okwerwanirira ne gulwanyisa obuwuka buno ekibuleetera okukendeera mu mubiri. Bw'oba waakafuna obubonero bwa ssennyiga ono, kiba kirungi okugenda mu ddwaaliro n'oyawulibwa oleme kusiiga banno.

Corona bayinza okumukwatira mu bulago nga tannatuuka mu mawuggwe?

Kisoboka, naddala mu nnaku ezisooka ng'omuntu yaakafuna obulwadde buno ekireetera obuwuka okukendeera era y'ensonga lwaki abantu abamu ababufuna tebafuna buzibu ku mawuggwe.

Wabula ekizibu ku Coronavirus, bwe buyingira mu mubiri, busooka ne bwekweka abaserikale abalwanyisa obulwadde nga tebulabika ne butandika okwalula ekibuleetera okulwa mu mubiri.

Abaana bubayisa butya ?

Abaana nabo basobola okufuna ssennyiga omukambwe naye tabayisa bubi nnyo ng'abantu abakulu kubanga emibiri gyabwe gisobola okwerwanako ekimala.

Ekirala, obutoffaali Coronavirus kw'akwata tebalina bungi y'ensonga lwaki abaana abato abalina Corona batono.

Kyokka mu kiseera kino, abaana nabo batandise okubayigako ebintu bingi. Nabo bwe bafuna obulwadde bwa ssennyiga omukambwe balwala omusujja, ekifuba, okusaakaala kw'obulago, okukaluubirizibwa okussa n'ebirala.

Ate olw'okuba abaserikale abalwanyisa endwadde mu mibiri gyabwe babeera banafuye, kireetera n'ebitundu by'omubiri ebirala okukosebwa naddala omumiro era nga bino bye bimu ku byakazuulibwa mu baana .

Abawonye abalekako buvune ki obw'olubeerera?

Bwe tufuna abalwadde ba Corona, bateekebwa mu bibinja okusinziira embeera gy'ojjiddemu.

Waliwo abatalina bubonero, abalina obubonero naye nga tebali bubi, bano bawona bulungi naye basigaza obuzibu bw'okukuluusanyizibwa mu birowoozo.

Naye abajja nga bali bubi nnyo, ebiseera ebisinga batera okufuna obukosefu mu mawuggwe kuba gayinza obutawona bulungi n'ebitundu by'omubiri ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Philly Bongoley Lutaaya eyasooka okwerangirira mu Uganda nga bwalina siriimu.

▶️ Omututumufu ku Bukedde F...

Omututumufu;Leero tukuleetedde Uganda by'etuuseeko mu myaka 35 gavumenti ya Pulezidenti Museveni gy'emaze mu buyinza...

Everest Kayondo

▶️ Mu byobusuubuzi ku Buked...

Mulimu Ssentebe w'abasuubuzi Everest Kayondo ng'asaba okubaawo enteeseganya wakati w'abasuubuzi ne bannannyini...

Biden n'embwa ye.

Biden aleese embwa ze mu Wh...

JOE Biden 78, akomezzaawo akalombolombo ka bapulezidenti ba Amerika ne ffamire zaabwe okubeera n'embwa oba ebisolo...

Abakyala nga basanyukira Ashraf Nasser owa NRM awangudde ekya meeya wa jinja Southern division.

Owa NRM awangudde obwameeya...

ASHRAF Nasser ow'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) awangudde ekifo kya Meeya wa Jinja Southern Division....

Nakidde n'abawagizi be nga b'atabuse.

Bamuwadde fotokopi eriko eb...

Wabaddewo olutalo mu kulangirira obululu mu zooni ya Kironde e Kabowa,  mu munisipaali y'e Lubaga, omu ku beesimbyewo...