TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Engeri Corona gy'akosezzaamu abalwadde ba siriimu abaliko obulemu naddala bakiggala

Engeri Corona gy'akosezzaamu abalwadde ba siriimu abaliko obulemu naddala bakiggala

Added 15th July 2020

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu mu biseera bya ssenyiga omukambwe.





ABANTU bangi abalina akawuka ka siriimu ate nga bambi weesanga nga baliko obulemu. Wabula mu kiseera kino eky'omuggalo wesanga nga tebalina ngeri gye batambulamu kugenda kufuna ddagala ku Taso e Mulago. Kino kyongedde okubalaluubiriza n'okwongera okuteeka obulamu bwabwe mu mattigga.

Betty Babirye Kwagala akulira ebibiina kya ‘Positive Women with Disabilities' ekisangibwa e Mulago agamba nti omuwenda  gw'abalwadde abalina ekisizi ky'obutawulira oba obutogera mu ddwaaliro ly'e Mulago ku TASO bali mu 300 n'okudda waggulu ate nga balina akawuka ka siriimu.

Mu kiseera kino basanga okusoomozebwa kungi nga bano wammanga bwe bannyonnyola;,

Nze Christine Nambooze 49 mbeera Kibuli, sijjukira mwaka gwenatandika kumira ddagala okuva ku Taso naye nga ndimazeeko ebbanga eriwera, wabula mu kiseera kino tusanga okusoomozebwa kungi kuba baatugaana okutambula olw'obulwadde buno.

Kyokka nnina muzukulu wange wa myaka 4 wabula kitaawe yatabuka omutwe ne bamunsuulira ate nga naye bwe yakeberebwa kyazuulwa nti naye alina akawuka ka siriimu lwakuba nti ye ayogera si kasiru nga nze.

Sirina mulimu gwonna gwe nkola ate n'obuyumba mwensula enkuba bwejja eyingiza amazzi. Omukisa gwe mbadde nkyalina nti mukyala Kwagala owa Taso abadde asobola okumpereza ku ddagala olumu n'okusindika abantu nebampa ku mmere n'ebintu ebirala ebikozesebwa. Naye embeera si nnungi naddala mu kiseera kino.

Ate Ritah Namuddu Nnaalongo agamba nti asanze obuzibu bungi naddala mu kiseera kino okugenda okufuna eddagala kuba entambula nzibu kyokka nga kati ekitundu kye ekimu kyasanyalala atambula awenyera.

Kyokka ekizibu ekiriwo olumu akaluubirirwa kuba abasawo abasing tebategeera lulimi lwa bubonero. Agamba ngezaako okuwandiika lwakuba oluzungu lwange lumenyefu naye olumu nfuna okuyambibwa bwekigaana nga nzira awaka oba si kyo ntambula n'omwana wange omukulu yakola byonna era yawandiika n'ennaku z'okudda mu ddwaaliro.

Ate Faridah Nabulya Ssemakula nga naye kiggala agamba nti mu kiseera kino bakiggala basumbuyibwa mu mpeereza y'eddwaaliro are tusaba gavumenti ebayambeko. Kuba olulimi lw'obubonero luzibu bangi tebalutegeera ate bwe kituuka ku balwadde b'akawuka ka siriimu yanditaddewo enteekateeka y'okulibatuusaako.

Wabula Mark Mwesiga ow'ekitongole kya Palliative Care Association of Uganda abamu kubatera okuyamba ku balwadde bano agamba nti kyandibadde kirungi gavumenti neteeka mu malwaliro abasawo oba abantu abamanyi olulimi lw'obubonero nebasobola okuyamba ku balwadde bano nabo ne bafuna empeereza z'obujanjabi ng'abalala.

Gavumenti yandisizizza enkola y'okujjanjaba bw'okubudaabuda wakiri mu buli ddwaaliro ne kimanyika nti balina okugyettanira kuba abalwadde bano abasing obungi y'enzijanjaba gye betaaga eya palliative care. Omulwadde mumulondoola okuva mu ddwaaliro okutuuka awaka. Ne mumuwa eddagala, okubudaabudibwa n'ebyetaago ebisookerwako kuba abantu bano naddala abalina akawuka betaaga okufiibwako obutasosolebwa, n'okulagibwa omukwano nabo ne bafa  nga bali mu ssanyu.

Bwe tunakola kino kijja kutuyamba okubunyisa obujjanjabi mu bantu abatali bamu kuba buli muntu yetaaga obujjanjabi, kuba ekiruubirwa kya bunyisa bujjanjabi ‘Universal health coverage'. Bino yabyogeredde bwe bwabadde bagenze okukyalira ku balwadde abalina obuzibu mu kuwulira, okwogera ate nga balina akawuka ka siriimu n'okubatwalira ku buyambi n'eddagala.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...