TOP

Laba okusoomooza bamaama abazaala omulundi ogusooka kwe bayitamu

Added 14th August 2020

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula obulungi .

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Bya Peace Navvuga

Wabula okunoonyereza kulaga ng'abaana abasoka bwe batayonsebwa kimala. Omwezi guno Uganda yeegasse ku nsi yonna okukuza empisa y`okuyonsa abaana abawere.

Tukulaze okusoomoozebwa bamaama abayonsa omulungi ogusooka kwebayitamu.

Shakira Bagume (18) omutuze w`e Masanafu agamba nti ye okusoomoozebwa kwe yafuna kwe kutya amabeere ge okugwa mpozzi n'ekyokuzuukukanga ekiro okuyonsa omwana.

Bwete omuzaalisa ng'annyonnyolo lwaki abakyala abaakasooka okuzaala basanga okusoomoozebwa

Ate ye Babirye Mariam ow`e Kikajjo - Kasangye - Wakiso agamaba nti yafuna obuzibu bw`okuzimba ebbeera ng'ayonsa omwana we asooka ekyamuviirako okukyawa okuyonsa omwana we.

Nabatanzi Bwette owa Uganda Private Midwives Association, ekibiina ekigatta abazaalisa abeekozesa bokka  agamba nti okusoomoozebwa okusinga obungi kusinga kuva mu bamaama abaakatandika okuyonsa.

Kino kiva ku bulumi bwe bayitamu nga bazaala abaana omulundi ogusookedde ddala. Obulumi buno bubaviirako okukyawa okuyonsa abaana. Kyokka singa omukyala afuna okusomesebwa okumala ng'akyali lubuto kimuyambako okuyonsa okwangan'anga obuzibu buno n'ayonsa omwana we bulungi kuba aba afunye okubuulirirwa okumala.

Sarah Namyalo

Nabantanzi akuutidde bamaama okuyonsa abaana awatali kugattako kintu kyonna okumala emyezi mukaaga.

Sarah Namyalo, akulira Uganda Private Midwives Association agamba nti ebirowoozo n'okweraliikirira bye bimu ku bibuza bamaama abayonsa amata mu mabeere okugeza ng'omusajja obutamulabirira ng'amaze okuzaala, obutafuna byakulya bimala, okumugoba mu nnyumba n'ebirala era oluusi kino kiyinza n'okuviirako maama okugwa eddalu.

Wabula agamba nti singa omukyala yenna abeera mu mbeera eno, kyabuvunaanyizibwa abooluganda okumuyambako kyokka singa kigaana, atwalibwe bunnambiro mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi obwekikugu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...