TOP

Omujjuzo mu ddwaaliro e Mukono gweraliikiriza

Added 20th January 2021

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera okukwatibwa ssennyiga omukambwe.

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Okuva mu November w'omwaka oguwedde okutuuka Obulamu kati ku bantu 1,350 abaakebereddwa ssennyiga omukambwe nga baggyibwako amalusu g'omu kamwa mu ddwaaliro lino, abasoba mu 83 be bazuuliddwa nga balwadde. Abaazuulibwa n'obulwadde kwaliko n'abasawo.

Dr. Anthony Kkonde akulira ebyobulamu ku lukiiko lw'ekibuga Mukono agamba nti gye buvuddeko waliwo omu ku basawo baabwe amannya galekeddwa) eyafuna ssennyiga omukambwe.

Baamuddusa mu ddwaaliro e Mengo okufuna obujjanjabi kyokka olw'obuseere bw'eddagala ab'e Mengo baamukwatirayo nga baagala asooke asasule ebbanja lya 1,200,000/- ezaali ez'obujjanjabi.

Ebbanja nga balimazeeyo baamutwala e Mulago kyokka nayo tebyali byangu nga baamusaba obukadde obusoba mu busatu era nayo ne bamukwattirayo kyokka abooluganda ne minisitule y'ebyobulamu ne babiyingiramu ne bamusasulirako ku ssente nga kati yawona wadde nga tannadda ku mulimu.

Waliwo n'abasawo abalala abalwadde ba ssennyiga omukambwe nga mu kiseera kino bafuna obujjanjabi mu malwaliro ag'enjawulo.

EMBEERA MU DDWAALIRO LINO

Ennaku bbiri omusasi ze yamaze ku ddwaaliro lino yakizudde nti omujjuzo mungi naddala.ku waadi y'abakyala abeembuto abagenda okubateekateeka okuzaala obulungi Enkola ya Tonsemberera bagivaako. Ekifo kyonna kijjudde nga n'entebe kwe batuula ntono era abamu obasanga bayimiridde.

Tewali mabanga olwa balina embuto abali wakati 600 ne 700 eddwaaliro lino okunywa eddagala ate abamu bagendayo kuzaala. Waliwo abava e Bweyogerere, Kireka mu Wakiso nabo ne bagenda mu ddwaaliro lino.

ABALWADDE N'ABAJJANJABI BOOGEDDE

Diana Atukunda, 23 omuyizi mu Yunivasite y'e Kyambogo agamba nti: Nze omu ku bayizi abaafuna embuto mu muggalo gwa Covid 19 nga nnina omwana wa myezi esatu.

Leero ndi wano ku ddwaaliro e Mukono we nazaalira omwana wange nga nzize okuwerekerako muto wange naye eyafuna olubuto nga yali amaze S4, nga muyizi munne ye yalumufunyisa.

Okuzaala omwana wange bannongoosa oluvannyuma lw'olubuto okunumira wiiki nnamba omwana n'akoowa. Wabula abasawo bantegeeza nti bagenda kunnongoosa misana ne bawa ensonga nti ekiro tebalongoosa kubanga tebalina basawo bamala era omukyala bw'abeera waakulongosebwa kiro bamuwa ebbaluwa emwongerayo e Kawempe ne Kawolo.

Akulira Woodi y'abembuto n'abaana Alex Naamala agamba nti eddwaaliro lino lissa essira ku bakyala basobole okuzaala obulungi. "Olunaku tufuna abeembuto abajja okunywa eddagala abasuka mu 300. Kyokka ekizibu nti abantu batwala obulwadde bwa ssennyiga omukambwe nga eky'okusaaga.

Kubanga bangi ebigobererwa okutangira obulwadde baabivaako omuli; okwewa amabanga, okunaaba mu ngalo n'okwambala obukookolo era twakifuula tteeka nti atakambdde tetumujjanjaba.

Kyokka okwewa amabanga kwe kusoomoozebwa okusinga kubanga ekifo kifunda ate abakyala bangi. Musawo Naamala agamba nti baagala Gavumenti ebongere ku muwendo gw'abasawo mu waadi yaabwe.

Mu kiseera kino balina abasawo 5 nga batono ddala ate olw'obulwadde bwa ssennyiga omukambwe, abayizi abasoma obusawo abajjanga ku ddwaaliro okwegezaamu baayimirizibwa. "Ekirala naffe ng'abasawo twagala batuweeyo akasiimo nga kino kijja kutuzzaamu amaanyi.

Dr. Christopher Bingi omu ku basawo ku ddwaaliro lino agamba nti wadde eddwaaliro lyasuumusibwa okuva ku Health Centre lV okufuuka eddwaaliro erijjuvu, bino biri mu bigambo kubanga ku basawo 9 abalina okubaawo, balina 4 bokka. Ebikozesebwa mu kutangira ssennyiga omukambwe mu basawo kikyali kizibu ate omujjuzo gulemesa abasawo n'abalwadde okwewa amabanga.

Eddwaaliro teririna ambyulensi esobola kwongerayo balwadde abeetaaga kufuna obujjanjabi obusingako nga balina mmotoka ya Double Cabin emaze emyaka 15, gye bakozesa emirimu gyonna.

"Twetaaga ambyulensi esobola okutambuza abalwadde abayi, ebyuma ebikebera okuzuula obulwadde obuluma omuntu ebya X-rays, eddwaaliro teribirina ng'ababeera balina okukeberebwa babasindika mu malwaliro amalala nga n'abamu bagenda mu g'obwannannyini.

EBYOBUFUZI BIREMESEZZA OBUJJANJABI OKUTUUKA KU BALWADDE

Dr. Kkonde agamba nti, ebyobufuzi ebiyingidde mu mpeereza y'eddwaaliro ye kanaaluzaala alemesezza abasawo okutuusa empereza ematiza eri abalwadde. Kiva ku boobuyinza mu disitulikiti y'e Mukono okwagala okwezza obuvunaanyizibwa bw'eddwaaliro ate nga munisipaali be bannannyini kubanga mu mateeka alina ekyapa ye

amannya galekeddwa) eyafuna ssennyiga
omukambwe.
Baamuddusa mu ddwaaliro e
Mengo okufuna obujjanjabi kyokka
olw'obuseere bw'eddagala
ab'e Mengo baamukwatirayo nga
baagala asooke asasule ebbanja lya
1,200,000/- ezaali ez'obujjanjabi.
Ebbanja nga balimazeeyo baamutwala
e Mulago kyokka nayo tebyali
byangu nga baamusaba obukadde
obusoba mu busatu era nayo ne
bamukwattirayo kyokka abooluganda
ne minisitule y'ebyobulamu ne babiyingiramu
ne bamusasulirako ku ssente
nga kati yawona wadde nga tannadda
ku mulimu. Waliwo n'abasawo abalala
abalwadde ba ssennyiga omukambwe
nga mu kiseera kino bafuna obujjanjabi
mu malwaliro ag'enjawulo.
EMBEERA MU DDWAALIRO LINO
Ennaku bbiri omusasi ze yamaze ku
ddwaaliro lino yakizudde nti omujjuzo
mungi naddala.ku waadi y'abakyala
abeembuto abagenda okubateekateeka
okuzaala obulungi
Enkola ya Tonsemberera bagivaako.
Ekifo kyonna kijjudde nga n'entebe
kwe batuula ntono era abamu obasanga
bayimiridde. Tewali mabanga olwa
balina embuto abali wakati 600 ne 700
eddwaaliro lino okunywa eddagala ate
abamu bagendayo kuzaala. Waliwo
abava e Bweyogerere, Kireka mu
Wakiso nabo ne bagenda mu ddwaaliro
lino
ABALWADDE N'ABAJJANJABI BOOGEDDE
Diana Atukunda, 23 omuyizi mu Yunivasite
y'e Kyambogo agamba nti:
Nze omu ku bayizi abaafuna embuto
mu muggalo gwa Covid 19 nga nnina
omwana wa myezi esatu.
Leero ndi wano ku ddwaaliro e
Mukono we nazaalira omwana wange
nga nzize okuwerekerako muto wange
naye eyafuna olubuto nga yali amaze
S4, nga muyizi munne ye yalumufunyisa.
Okuzaala omwana wange
bannongoosa oluvannyuma lw'olubuto

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekabembe ng’alaga ezimu ku keeki eziwedde okuyooyootebwa.

Ssekabembe eyatandika ne 25...

SINKANA Brenda Sekabembe alina emyaka 42 nga ye mutandisi wa kkampuni ekola keeki eya Bake for Me esangibwa mu...

Poliisi ng’ewalabanya omu ku baaziikudde omulambo gwa Ssali.

▶️ Poliisi egugumbudde abaa...

AMASASI ganyoose mu kuziika nga poliisi egumbulula ebbiina ly'abavubuka abeeridde omuguju ne baziikula omulambo...

Abamu ku basuubuzi abaalumbye ofi isi ya Kushaba.

▶️ Omukazi eyawambye akatal...

MINISITA wa Kampala alagidde omukyala Suzan Kushaba okwamuka mu bwangu ofi isi za KCCA ze yawambye ne yeerangirira...

Abakungu okuva mu kitongole ky’ebyobulamu oluvannyuma lw’eddagala erigema COVID 19 okutuuka mu ggwanga. Baabadde ku kisaawe e Ntebe.

▶️ Okugema Corona kutandika...

BANNAYUGANDA babagumizza ku ddagala erigema corona eryatuuse mu ggwanga nga bwe litalina buzibu eri obulamu bw'abantu....

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...