TOP

Aba takisi mwetandikirewo SACCO

Added 14th July 2011

Buli siteegi esobola okuba n’akakiiko akalondoola emirimu gya SACCO. Ssente eziva ku siteegi muzikendeeze sso si kuziggyawo ng’abalala bwe bagamba.

Akakiiko ka buli siteegi kabe n’obuvunaanyizibwa okusolooza ssente ezo kazitwale ew’omuwanika ow’oku ntikko ab’alondedwa era nga

Buli siteegi esobola okuba n’akakiiko akalondoola emirimu gya SACCO. Ssente eziva ku siteegi muzikendeeze sso si kuziggyawo ng’abalala bwe bagamba.

Akakiiko ka buli siteegi kabe n’obuvunaanyizibwa okusolooza ssente ezo kazitwale ew’omuwanika ow’oku ntikko ab’alondedwa era nga ziweebwako lisiti. Mu paaka mulimu baddereeva, kondakita, bulooka, gayidi, wadeni ne bakanyama era ezimu ku ssente ezikung’aanyizibwa ze zisasula bagayidi, wadeni ne bakanyama naye era musobola okugereka ssente ezo ne zikola ku byetaago.

Mukole ekiwandiiko mukiweereze aba UTODA nga muyambibwako abakugu mu zi SACCO mweddukanyize ekintu nga tewali kusika mugwa.

Ebbanga UTODA ly’emaze mu nsiike singa yafuka dda bbanka. era singa kumpi buli mmemba alina kye yeenyumirizaamu nga ne sipeeya mumugula mu dduuka lyammwe. Katugambe nti takisi ziri 5,000/- oba 6,500/- muba bammemba 10,000/- oba 13,000/- singa nga buli lunaku mmemba atereka 1,000/- omugatte ziba 13,000,000/-, buli lunnaku, omwezi 390,000,000/- omwaka 4,680,000,000 = muli ku bugagga naye temufaayo kulondoola bikolebwa kitongole.

Omulimu gwa takisi gwe gwokka ogusobola okukung’aanya abantu ne bassa kimu. Muve mukuneneg’ana mutereeze ekitongole musobole okwegobako obwavu. Mu kanyoolagano kano bannannyini mmotoka basirise. Nsaba nammwe muveeyo ne ddoboozi erya wamu mutereeze omulimu gwammwe. Muve ku nkola y’okwewola mu bibiina, mwesibye mwekka mu bwavu, abakulembeze bammwe tababayambye kweggya mu bwavu. Nanyonga Nusula, Kyengera.

Aba takisi mwetandikirewo SACCO

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...