Gye buvuddeko nasoma mu mawulire nga bagamba nti Gavumenti yafulumizza ssente okukuba kaadi ezo kyokka bwe mpulira nti tezigenda kwetaagibwa mu kulonda nfuna okutya.
Bwe ziba ssente ezo mwazifuna zakola ki? Bwe ziba tezajja Kiggundu atutangaaze tuleme kumuggyamu bwesige.
Wabula twerinde emivuyo kuba abamu tetulina kaadi.
0782504701
Tukooye abasuubiza ebyoya by’enswa
NSABA bannabyabufuzi mukomye okutulimba nga mutusuubiza empewo.
Ku mulundi guno tugenda kwegendereza nga tulonda tufune abanaatuyamba.
0774705567
Abakazi temutwesittaza
Nsaba minisita avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa atugambire ku bakazi abambala engoye ennyimpi ne batwesittaza.
Abakazi abamu be bavaako abasajja okubakwata.
0715146185
Obubaka bw’oku ssimu