Bannabyabufuzi bagenda buli wamu ne gye babadde tebagenda. Obasanga mu bufunda abantu gye banywera walagi n’ebifo ebirala.
Wabula mbasaba muleme kutabulatabula masinzizo. Waakiri abantu mubalinde ebweru nga bafulumye okudda mu maka gaabwe naye temutandika kunoonya bululu ng’abantu bakyali mu kusinza.
Nsaba n’abakulembeze mu makanisa muleme kubawa mwagaanya kwogera byabufuzi nga mukyasaba.
Diana Nakaleme,
Wakiso.
Muggye ebyobufuzi mu masinzizo