TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga za Federo, Mmengo yeemulugunya okulwawo okuddamu okuziteesaako

Ensonga za Federo, Mmengo yeemulugunya okulwawo okuddamu okuziteesaako

Added 30th October 2011

MINISITA wa gavumenti ezeebitundu e Mmengo, Jolly Lutaaya agambye nti agenda kulaba ng’abaami baanjulwa ku mikolo gy’Obwakabaka wonna we ginaaba gitegekeddwa nabo Ssaabasajja abalabeko.

MINISITA wa gavumenti ezeebitundu e Mmengo,  Jolly Lutaaya agambye nti agenda kulaba ng’abaami baanjulwa ku mikolo gy’Obwakabaka wonna we ginaaba gitegekeddwa nabo Ssaabasajja abalabeko.

“Ensonga y’abatongole, abaami okuvaayo Kabaka abalabe ku mikolo gy’Obwakabaka, nja kufuba okulaba nga kiteekebwa mu nkola nammwe mufune amaanyi nga muweereza,” bwe yategeezezza.

Okwogera bino yabadde adda mu kusaba kw’omwami w’eggombolola ya Mumyuka Nakawa, Ahmed Matovu eyasabye nti abaami nabo banjulwenga ku mikolo Kabaka kw’abeera naddala abo ab’omu kitundu ekiba kikyazizza, nga bwe kikolebwa ku ba LCI bwe bavaayo ne boogera nga Pulezidenti akyadde awantu.

Ku mukolo guno ogwabadde ku kitebe kya munisipaali y’e Nakawa wiiki ewedde, abaami 240 baatuuziddwa  ne baweebwa amabaluwa okuweereza Obwakabaka mu ggombolola ya Mumyuka Nakawa.

Kaggo Tofiri Kivumbi Malokweza yategeezezza nti essaza ligenda kuddamu okuwa abaami bano bonna emisomo okusobola okukulembera obulungi abantu era n’asaba minisita nti enkola y’obukulembeze bw’abaami okutuukira ddala wansi mu byalo egende ne mu bitundu ebirala wonna.

Ye Mumyuka Ahmed Matovu yasabye abantu b’e Nakawa bakkirizibwe okulongoosa olubiri lwa Kabaka e Banda ng’ab’e Lubaga bwe balongoosa olw’e Mmengo.

Ggombolola y’e Nakawa erimu emiruka 14 okuli; Mutungo, Nagulu, Mbuya, Luzira n’emirala.
                   
 

Ensonga za Federo, Mmengo yeemulugunya okulwawo okuddamu okuziteesaako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...