TOP

Mmengo yeemulugunya ku by'okuteesa ku Federo

Added 30th October 2011

MMENGO etegeezezza nti, obweyamo bwa pulezidenti Museveni ku by’enteeseganya wakati wa gavumenti eya wakati ne Buganda ku Federo n’ebintu ebirala Abaganda bye babanja bwe yalagira omumyuka we Edward Ssekandi okutandika okuteesa bukyagaanyi okuvaamu omwasi.

MMENGO etegeezezza nti, obweyamo bwa pulezidenti  Museveni  ku by’enteeseganya wakati wa gavumenti eya wakati ne Buganda ku Federo n’ebintu ebirala Abaganda bye babanja  bwe yalagira omumyuka we Edward Ssekandi  okutandika okuteesa bukyagaanyi okuvaamu omwasi.

Pulezidenti bwe yabadde ku mikolo gya Ssekandi egy’okwebaza Katonda olw’okumutuusa ku kitiibwa ekyo  gye buvuddeko yamulagidde (Ssekandi) okukola enteekateeka z’enteeseganya ku Federo n’ebirala okuddamu kyokka ab’e Mmengo bagamba nti Ssekandi tannaabako ky’akolawo ekitandise okubamalamu amaanyi.

Minisita wa Kabaka avunaanyizibwa ku by’okulanya, Kabuuza Mukasa yategeezezza nti  bukya omumyuka wa Pulezidenti Ssekandi alagirwa mukama we tewali  kinene kya nnyo kyakoleddwawo ekibalowoozesa nti oba olyawo ebigambo byali bya kiguumaaza.

Ssekandi mu kiseera kino ali mu Australia gye yakiikiridde Pulezidenti Yoweri Museveni.

Kyokka ssentebe  wa  NRM mu Buganda, Hajji Abdul Nadduli yategeezezza nti Abaganda ne Mmengo baleme kusooka kuggwaamu maanyi kubanga ye ne Ssekandi n’abantu abalala abakwatibwako ensonga eno  batandise okussaawo olukang’ana olunaagobererwa mu nteesaganya.

Nadduli yagambye nti  asisinkanye Ssekandi enfunda eziwerako ku nsonga eno nti  era ne Ssekandi agitwala nga nkulu kyokka waliwo bye babadde balina okusooka okukkaanyako n’oluvannyuma batuukirire Mmengo naye yeetereeze.

Nadduli yategeezezza nti naye ku mukolo  Museveni kwe yalagirira omumyuka we e Masaka yaliyo era bw’agatta ekyo n’ekyokuba nti ye ssentebe wa NRM mu Buganda ng’ate naye Federo kw’afiira  tayinza kutuulira awo.

Kyokka waliwo omukungu w’e Mmengo omulala eyategeezezza nti okusinziira ku bizze bibeerawo nga Mmengo ne gavumenti bamala ebiseera mu bufubo kyokka ate oluvannyuma ne watabeerawo kituukibwako talina ssuubi nti ku mulundi guno wanaabaawo ekipya.

“Twagala pulezidenti eby’okudda mu kuyita enteesaganya oba abiveeko agambe bugambi nti Mmengo bagiwe Federo oba tebagiwa kubanga amateeka mw’asobola okukolera ekintu ekyo wegaali.

Asobola okukunga ababaka ba NRM mu kabondo kaabwe nga bw’akola ku bintu ebirala ne kibeerawo,” Minisita wa Kabaka omulala eyasabye amannye ge okusirikirwa bwe yategeezezza.

Okusooka Nadduli yagambye nti ekituufu Buganda yeetaaga Federo si kintu kirala kyonna nti naye ebintu nga bw’abiraba enjuyi zombi zirina okubeera enzikakkamu obuwanguzi butuukibweko.

 

Mmengo yeemulugunya ku by’okuteesa ku Federo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...

Ssentebe wa LC II e Luwero ...

SSENTEBE wa LC II e Luweero yasoose kulaalika babbi ababbye pikipiki ye n'abawa ennaku 10 bagizze we baabadde bagiggye...