KATIKKIRO wa Buganda J.B. Walusimbi agambye nti bagenda kwongera amaanyi mu Kitongole ekikola satifikeeti za Buganda nti kuba kikola kinene okuyimirizaawo emirimu gy’Obwakabaka egitali gimu.
Katikkiro agambye nti waliwo satifukeeti ezaakolebwanga nga sitiika z’oku mmotoka kyokka nga mu kiseera bagenda kuddamu okuzirondoola bazuule we zaabulira.
Mu kiseera kye kimu Katikkiro akubirizza Abaganda okukomya omuze gw’okutema ebibira okwokya amanda kyokka nga tebasimba mirala ky’agambye nti kya bulabe nnyo eri embeera y’obudde mu ggwnaga.
Bino yabyogedde asisinkanye abatuuze mu Ggombolola y’e Ssisa abaamukyalidde mu ofiisi ye ku Bulange e Mmengo ne bamutegeezezza ng’abantu mu kitundu kino bwe beefunyiridde mu kutema emiti ng’ebibira bingi bisaanyiziddwawo.
Baakulembedwamu Omwami wa Kabaka owa ggombolola y’essisa Cyprian Lwanga n’omumyuka we Damalie Nakigozi era nga bawerekeddwaako n’omubaka wa palamenti owa Busiro South, Joseph Balikuddembe Mutebi ne ba kansala ku Disitulikiti y’e Wakiso.
Baloopedde Katikkiro engeri abantu mu kitundu kino gye bayigganyizibwamu ku ttaka abantu abatategeerekeka ababasengula buli olukedde nga kino kibalemesezza n’okubaako emirimu egy’enkalakkalira gye bakola nga batya nti banaaba baakatandika ng’ate babagoba mu kitundu.
Baaguze satifikeeti ya 1,640,000/ okudduukirira Obwakabaka.
Ab’e Ssisa bakiise e Mmengo