
Bya HANNINGTON NKALUBO
KKOOTI ekkirizza okusaba kwa KCCA n’eseeseetula okuwulira omusango gwa UTODA okuva ku December 5, ne guzzibwa ku November 21, 2011 olw’akavuyo ka baddereeva akaabadde mu kibuga.
Kino kikoleddwa omulamuzi wa kkooti enkulu Eldad Mwangushya oluvannyuma lw’akulira ekibuga Jennifer Musisi okuwandiikira kkooti ng’agitegeeza nti okulwawo kw’omusango kigenda kufiiriza KCCA ssente kubanga abamu ku baddereeva tebasasula.
Omusango gwaseeseetuddwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde. Kino we kijjidde nga Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago afulumizza ekiwandiiko ekigaana baddereeva okusasula ssente mu UTODA. Yasinzidde Mecca gye yagenda ku Hijja n’afulumya ekiwandiiko ng’agamba: “UTODA yatwala KCCA mu kkooti ng’egivunaana okwagala okusazaamu ttenda yaayo, kino kitegeeza nti ekiseera kino terina ttenda era UTODA tekkirizibwa kusolooza ssente okuggyako ng’omusango guwuliddwa” ebbaluwa bw’egamba.
Kyokka ekiwandiiko kkooti kye yawa UTODA kiragira KCCA okuyimiriza okusazaamu ttenda ya UTODA okutuusa ng’omusango guwuliddwa era KCCA tekkirizibwa wadde okweddiza paaka zaayo okusoloozaamu ssente.
Kino KCCA yakikkiriza ng’egamba nti bo kitongole kya gavumenti ekigendera ku mateeka era ekiseera kino UTODA yekkirizibwa okusolooza ssente mu baddereeva bonna era abajeemera okubawa ssente aba amenye mateeka avunaanibwa.
Wabula baddereeva abawakanya enkola ya UTODA mu kibiina kyabwe ekya DACCA, baagamba nti tebagenda kuddamu kusasula UTODA ssente kubanga ttenda yaabwe yagwaako nga October 31.
Oluvannyuma lwa kkooti okuwa UTODA ekiragiro, abamu ku baddereeva baakubagana n’abakozi ba UTODA omusaayi ne guyiika nga balwanira ssente ezigambibwa nti zibasoloozebwaako aba UTODA ate ng’endagaano yaabwe yaggwaako dda.
Kkooti ekyusizza omusango gwa UTODA