Kyandibadde kirungi omwana asome ebintu by’awulira nti ayagala. Olwo ajja kubitegeera bulungi era kiba kyangu okuyitira waggulu ebigezo bye. Ennaku zino amasomo ga ssaayansi baagafuula ga buwaze kyokka kino kyayongera buzibu kubanga abayizi abamu bakiraba nga ekibonerezo.
Abagasomesa ate tebafaayo kubaagaza kye babasomesa Nsaba minisitule y’ebyenjigiriza ensonga eno egirowoozeeko nnyo
Kibirige Charles Kalwanga-Kalisizo Rakai
Mukyuse emasomo g’abayizi