Omwenge bw’ogunywa ne guyitirira gukulemesa okukola ebintu ebyomugaso. Oluusi oyinza n’okulemwa okukola kuba oba weewulira ng’omulwadde.
Ennaku zino ssente tezikyalabika. Ssente z’onywamu omwenge wandiziterese n’oweerera abaana. Singa ogula eccupa 10 olunaku kitegeeza osaasaanyizza ekitono ennyo 25,000/- bwe ziba za buli lunaku wiiki osaasaanya ng’emitwalo 17.
Bwe muba mugunywa mulowooze mufube nnyo obutayonoona ssente wadde okwewebuula.
Irene Nambi,
Kawempe.
Munywe omwenge ogw’ekigero