Bino okubaawo Ragga Dee yabadde mu Club Silk ng’ayimba.
Omuvubuka Emmanuel Kazibwe akuuma ekifo kino yategeezezza nti yawulidde abamenya ekikomera ku ssaawa 7:00 ekiro kwe kuzuukuka.
“Bwe baatandise okumenya sito-owa ne nkuba enduulu. Nafulumye okudduka abasajja bana abaabadde n’emmundu ne bangoba ne ban-kwata ne bandeka nga banyinyise mu nnyanja ne baddayo okumenya,†Kazibwe bwe yagambye.
Yagasseeko nti yasobodde okuva mu mazzi n’adduka n’ategeeza ow’ebyokwerinda, Mw. Kalule eyakubidde poliisi essimu.
Raga Dee yagambye nti baamukubidde essimu okumutegeeza era bwe yatuuse mu kifo kino ne yeegatta ku batuuze ne bakola omuyiggo ne bakwatako omu eyalonkomye banne be baakwatidde e Nakulabye mu Zooni 6.
Abaakwatiddwa ye; Sharif Kiwe-ewa, Eddy Walakira, Denis Ssen-samba ne Kalule eyabadde avuga mmotoka kyokka Khadir Bugembe eyabakulembeddemu yadduse.
Omu ku baakwatiddwa, Walakira yagambye nti Khadir yabanonye n’abategeeza nti balina ekikomera kyabwe kyebagenda okumenya ekiro era nga buli omu baakumusasula 15,000/-.
“Tetulina atubanja era sifunangako muntu ajja wange nti akaaya-nira kifo kino,†Ragga Dee bwe yagambye.
Abasajja bano era baayonoonye n’ebintu bya muliraanwa wa Ragga Dee, Herman Ssemakula bwe baakoonye ekiyumba kye eky’enkoko ne bakisuula n’emiti ne bagitema.
Akulira Poliisi y’e Katwe, Lauben Wasinga yagambye nti abakwate bagguddwako omusango ku fayiro SD:06/25/04/10 ku poliisi e Katwe.
Â
Â
Bbiici ya Ragga Dee bagimenye