TOP

Abaaziise akawanga mu maka ga nnansi bakwate

Added 5th February 2010

Teopista Nakazibwe (54) ng’akola mu kitongole ekigaba eddagala e Mulago kyokka nga mutuuze w’e Kawempe Lugoba ye yagudde ku kibambulira kino omusamize Ali Segu-ya alina essabo e Nansana bwe yaleese banne basatu ne bamunyaga.

Seguya eyakwatiddwa poliisi agamba nti yamujjanjaba n’a

Teopista Nakazibwe (54) ng’akola mu kitongole ekigaba eddagala e Mulago kyokka nga mutuuze w’e Kawempe Lugoba ye yagudde ku kibambulira kino omusamize Ali Segu-ya alina essabo e Nansana bwe yaleese banne basatu ne bamunyaga.

Seguya eyakwatiddwa poliisi agamba nti yamujjanjaba n’awona bulungi kyokka bwe yakizuula nti Nakazibwe alina ku  ssente eziwerako kwe kwagala okugaziya omulimu n’amugamba afune akawanga k’omuntu bakasimbe  mu makage nga buli kizibu ekimugwira kyekonako ne kiddayo.

“Oluvannyuma neeko-baana ne bannange basatu  ne tulumba Nnansi  ate tuddemu okumulyako obukadde busatu  kyokka yatusasulako 500,000/-” Seguya bw’agammba  .
Seguya ku Mmande yakulembeddemu abaserikale b’e Kawempe n’abalaga amaka ga Nnansi n’ekifo we baaziika akawanga ne bakasimulamuyo mu ttaka era wabaddewo  ensuwa , eddiba ly’embuzi n’endiga bye basalirawo.

Nakazibwe yalabye bimusobedde kwe kusooka okuddukira ku  kitebe kya poliisi mu  ofiisi evunaanyizibwa  ku bikwata ku kusaddaaka abantu ekulirwa Moses Binooga n’aggulawo omusango ku Seguya ne banne ogw’omukubbako 5,200,000/- ku  fayiro nnamba CRB 418/2010

Binooga yalagidde abasajjabe e Kawempe bakwate Seguya ne banne okuli Med Sebunya eyeefudde omuseri-kale  ne Musa Maseruka  omusawo w’ekinnansi ng’akolera Namere mu Kawempe.

Abaaziise akawanga mu maka ga nnansi bakwate

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...