TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Tetugenda kukkiriza kukagabana na Muyindi’

‘Tetugenda kukkiriza kukagabana na Muyindi’

Added 29th November 2009

Ekitundu ekyogerwako kwe kuli  ab’emidaala gy’amabaati ekyakazibwako erya ‘Park yard’. Kigambibwa nti kyaguziddwa Omuyindi agenda okuteekawo ebibanda bya mmotoka.

Rugumayo Baguma omuwandiisi w’olukiiko lw’abasuubuzi n’akola nga ssentebe Lutaaya Ssenkungu bwe babadde boogera e

Ekitundu ekyogerwako kwe kuli  ab’emidaala gy’amabaati ekyakazibwako erya ‘Park yard’. Kigambibwa nti kyaguziddwa Omuyindi agenda okuteekawo ebibanda bya mmotoka.

Rugumayo Baguma omuwandiisi w’olukiiko lw’abasuubuzi n’akola nga ssentebe Lutaaya Ssenkungu bwe babadde boogera eri bannamawulire ku ofiisi z’abasuubuzi baategeezezza nti waliwo abantu abaalabibwako gye buvuddeko mu katale nga bapima ekifo kino kyokka oluvannyuma  baategeezezza nti ab’eggombolola baaguzaawo Omuyindi akulaakulaanyeewo.

Kino kyanyiizizza  abasuubuzi mu katale kano ne batiisatiisa okwekalaakasa n’okwang’anga omuntu yenna anaagendayo okubasengula.

Wabula ssentebe w’eggombolola y’e Nakawa, Protazio Kintu, bwe yabuuziddwa ku nsonga eno yawakanyizza eky’akatale okutundibwako ekitundu n’ategeeza nti bino bigambo by’abo abaliko ebyabwe bye beenoonyeza, akatale tekatundibwanga.

“Tuli mu nteekateeka za kumaliriza kuzimba katale era ekifo ekyogerwako kyateekebwawo nga kyakusimbamu mmotoka z’abasuubuzi abajja okusuubula n’abakolerawo baliwo mu bukyamu. Tetusobola kutundawo,” Kintu bwe yategee-zezza n’agattako nti    ettaka eririko akatale lya KCC.

 

‘Tetugenda kukkiriza kukagabana na Muyindi’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengedo alayiziddwa ku...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...