Kaweefube ono baamutandikidde ku mukolo gwe baategese ku Hotel Africana mu Kampala ogwetabiddwaako bannalotale okuva mu bitundu bya Kampala n’emiriraano abawaddeyo 50,000/- buli omu okuyingira ate n’abalala okuli: Gordon Wavamunno, Gen. Elly Tumwine, Ssebaana Kizito, Paul Ssemwogerere abeeyamye okuwaayo ssente ze bataayatudde muwendo okuyamba abaana.Â
Pulezidenti wa Lotale e Nateete, Gertrude Ssekabira yategeezezza abeetabye ku mukolo guno nti abaana bangi abeetaaga okuyambibwako mu bikozesebwa mu bulamu obwabulijjo.
Aba lotale basonze ez’okuziyiza poliyo