TOP

Akwatiddwa lwa kwokya mwana

Added 29th November 2009

Gertrude Nassonko abeera e Kabowa ku St. Anne ye yakwatiddwa nga kigambibwa nti yakutte akambe akookya ke yaggye mu ssigiri n’akayisa ku Judith Stefano n’amwokya emimwa n’ettama.

Okukwatibwa kyaddiridde omu ku batuuze e Kabowa okugenda ku poliisi n’amuwa-waabira ng’amulanga okutu

Gertrude Nassonko abeera e Kabowa ku St. Anne ye yakwatiddwa nga kigambibwa nti yakutte akambe akookya ke yaggye mu ssigiri n’akayisa ku Judith Stefano n’amwokya emimwa n’ettama.

Okukwatibwa kyaddiridde omu ku batuuze e Kabowa okugenda ku poliisi n’amuwa-waabira ng’amulanga okutulugunya omwana gwe yaleeta okumukolera. 

Nassonko eyasangiddwa ku poliisi e Namasuba yagambye nti yabadde abawadde eby’okulya nga bwe balinda ekyeggulo kyokka bwe yakomyewo okuva mu katale n’asanga ng’enva ziriiriddwa kwe kussa akambe mu ssigiri okusobola okumwogeza.

Nassonko yagguddwaako omusango gw’okutulugunya omwana oguli ku fayiro  SD: 07/24/11/09.
      

Akwatiddwa lwa kwokya mwana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....