TOP

Museveni akubidde Katikkiro ssimu

Added 22nd October 2009

Museveni era yasabye Katikkiro atwale eri Sipiika n’ensonga Mmengo ze yeemulugunyako eziri mu Regional Tier ezaavaako okugiwakanya, zonna zisobole okulowoozebwako etteeka lya Regional Tier bwe linaaba liteesebwako mu palamenti.

Museveni bwe yabadde ayogera eri eggwanga omwezi oguwedde yagambye n

Museveni era yasabye Katikkiro atwale eri Sipiika n’ensonga Mmengo ze yeemulugunyako eziri mu Regional Tier ezaavaako okugiwakanya, zonna zisobole okulowoozebwako etteeka lya Regional Tier bwe linaaba liteesebwako mu palamenti.

Museveni bwe yabadde ayogera eri eggwanga omwezi oguwedde yagambye nti Regional Tier egenda kussibwa mu nkola omwaka ogujja. Ensonda zaagambye nti Pulezidenti yategeezezza Katikkiro nti  olukiiko lwa baminisita lwamaze okuyisa ebbago lya Regional Tier ate lwamala dda okuyisa ery’ettaka  ng’erya Regional Tier  lyanjulwa mu palamenti ekiseera kyonna.

Bukedde bwe yatuukiridde  Sipiika Sekandi eggulo, yakkirizza nga Pulezidenti bwe yamukwasizza obuvunaanyizibwa buno n’agamba nti alina essuubi nti ebintu bya Buganda ebyafikka bigenda kussibwa mu tteeka. “Ssemateeka aba mufunda, naye etteeka nga lino lye tugenda okukola lye lijja okulambulula buli kintu,” bwe yategeezezza.

Yagambye nti mu nteekateeka ya Regional Tier, Buganda esobola okwekolera ssemateeeka w’Obwakabaka owaayo  kubanga, akakiiko k’Abataka ab’okulondebwa Kabaka okumukiikirira mu Lukiiko lw’e Mmengo, ke kalian obuyinza obujjuvu ku byennono omuli n’okussaako Kabaka.

Yagambye nti okwewala enkaayana ng’eziri e Busoga, Abaganda basaanidde okwanguwa okuzzaawo gavumenti ya Buganda erina obuyinza, era akakiiko k’Abataka kano kakole mangu ssemateeka w’Obwakabaka.

Mu Ssemateeka wa Uganda owa 1995 nga bwe yalongoosebwamu mu 2005, Gavumenti za Buganda, Busoga, Bunyoro, Acholi ne Lango, zaali za kutandika okukola okutandika ne July 1 2006.

Museveni akubidde Katikkiro ssimu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...