TOP

Balumirizza poliisi okunywa enjaga

Added 6th September 2009

Bino baabitegeezezza atwala poliisi y’e Kikoni, Apollo Kateeba mu lukiiko olwetabiddwaamu kansala w’ekitundu kino, Robert Nsumba ne sipiika w’olukiiko lw’eggombolola y’e Kawempe, Benjamin Mukasa wiiki ewedde.

Ssentebe w’ekitundu kino, Steven Air Tumuhairwe yategeezezza nti waliw

Bino baabitegeezezza atwala poliisi y’e Kikoni, Apollo Kateeba mu lukiiko olwetabiddwaamu kansala w’ekitundu kino, Robert Nsumba ne sipiika w’olukiiko lw’eggombolola y’e Kawempe, Benjamin Mukasa wiiki ewedde.

Ssentebe w’ekitundu kino, Steven Air Tumuhairwe yategeezezza nti waliwo abapoliisi abava e Nankulabye ne  bakung’aanira mu kasaawe akali mu kitundu kino ne bafuuweeta enjaga.

Yagambye nti abaserikale bano baggyira mu yunifoomu ng’oluva wano nga batandika okutulugunya abatuuze nga ba- basibako emisango gye batakoze.

“Abapoliisi bano beekobaana n’aba SPC  abaagobwa mu bikolwa bino ekitabangudde obutebenkevu,”bwe bagasseeko.

Omutuuze Damali Nattabi yagambye nti olw’ekkobaane eririwo n’abaserikale, kati ababbi beegiriisa misana ne batigomya ebyalo awatali abakuba ku mukono. “ Ate bwe buziba ne gujabaggira kuba abantu babateega mu makubo ne babanyagako ssente n’amasimu,” bwe yagasseeko.

Joyce Mugenyi yagambye nti abamu ku babbi ababatigomya bava mu bitundu by’e Lubaga n’amassekkati ga Kampala nga bwe bamala okunyaga nga beemulula  olwo ne kibeera kizibu okubakwata.

 Abatuuze Drake Nsamba ne Nanyonga  baalopedde Kateebe  abasula mu hositeero mu kitundu kino  nti bamansa kasasiro mu myala ne gizibikira. Ate Annet Ssebunya yagambye nti waliwo abantu ababatuukirira okuva mu Lubaga ne Kampala Central ne babasoloozaamu busuulu w’amayumba nga tebalina biwandiiko biboogerako ng’oyo agaana okusasula batiisa okuggalawo ekizimbe kye.

Annamaria Anyulu yeemulugunyizza nti omusolo gw’amayumba oguwoozebwa KCC munene ku muntu owabulijjo. John Kimbugwe yagambye nti eyaliko ssentebe w’ekitundu kino, William Mukiibi ne munne David Ndawula baagenda ne sitampu ya LC ekiremesezza abakulembeze abaggya okukola obulungi emirimu gyabwe.

Sipiika  Mukasa ne kansala  Nsumba baabawabudde bakungaanye emikono egikakasa nti Mukiibi takyali ssentebe waabwe bagiweereze mu kkanso ebikoleko.

  Mw. Kikoni, Apollo Kateeba yasabye abatuuze  bamukubire essimu nga balabye abaserikale abali mu yunifoomu mu kitundu kyabwe abakwate bayambe ku poliisi mu kubuuliriza ku bikolwa bino.

Balumirizza poliisi okunywa enjaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...