TOP

Ab’e Butabika basattira lwa ttemu

Added 6th September 2009

   Baagambye nti engeri ekitundu kyabwe gye kirimu abalimi b’ebikajjo abangi, abamenyi b’amateeka babyekukumamu ne basinziira omwo okutigomya ebyalo ng’olumu basangamu n’emirambo gy’abantu abateeberezebwa okuba nti battibwa babbi bano oluvannyuma lw’okubanyaga.

 Baawadde ekyâ

   Baagambye nti engeri ekitundu kyabwe gye kirimu abalimi b’ebikajjo abangi, abamenyi b’amateeka babyekukumamu ne basinziira omwo okutigomya ebyalo ng’olumu basangamu n’emirambo gy’abantu abateeberezebwa okuba nti battibwa babbi bano oluvannyuma lw’okubanyaga.

 Baawadde eky’okulabirako ky’omulambo gwa Vincent Ssekitooleko ogwasangiddwa  mu bikajjo okumpi n’omwalo  nga kigambibwa nti yatugiddwa n’asalwako ebitundu eby’ekyama. Obweraliikirivu bw’abantu b’ekitundu kino businze kuva ku bantu abasaabalira ku mwalo okuva mu  Kirombe okugguka e Bukasa nga guno gwandibeera ogumu ku mikutu abazigu gye bakozesa okuzinda ekitundu ne babatigomya.

Omulambo omulala gwabadde gwa mukazi nga gwasangiddwa gusuuliddwa mu kasasiro okumpi n’ekirombe ng’asaliddwaako amabeere.

 Irene Namaganda  agamba nti olw’okwekengera ettemu lino, abatuuze mu kitundu kino beggalira bukyali nga kino kibamalako emirembe. Yasabye baweebwe poliisi ennawunyi.

Emmanuel  Kizito yagambye nti abavubuka bangi mu Kirombe bakirereese abakeera okuzannya zzaala n’okunywa enjaga nga wano webakolera omupango okutigomya ebyalo.

Abudalla Kato yagambye nti abaana bangi abali wakati w’emyaka 5-7 babuziddwaawo mu kitundu ne bataddamu kulabika. Ate Florence Kiridde obunafu yabutadde ku ba LC abatafuddeyo kumalawo mbeera eno.

Damiano Wesonga alumiriza poliisi y’e Butabika nti eyimbula abamenyi b’amateeka abatwalibwayo so nga n’enjaga etundibwa kyere mu maduuka ng’esabikiddwa nga sigala.

 Betty Atunga ng’ono omwana we yabuzibwawo agamba nti bakirereese bano bandiba nga balina omukono mu bikolwa eby’okubuzaawo n’okusaddaaka abaana mu kitundu kino kuba tebalina abakuba ku mukono.  Ssentebe w’ekitundu, Tamale   Katumba yagambye nti poliisi ya Jinja Road yasaba abatuuze bagiroopere abamenyi b’amateeka.

Ab’e Butabika basattira lwa ttemu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...