TOP

Abasomesa b'Oluganda bawakanyizza okuluwera

Added 12th November 2012

AB’EKIBIINA ky’olulimi Oluganda bavuddeyo ne balaga obutali bumativu bwabwe olwa gavumenti okulaalika nga bw’egenda okuwera okusomesa ennimi ennansi mu siniya ne bagamba nti lino kkobaane erikoleddwa okudibya n’okusaanyaawo ennono z’abantu mu bugenderevu.

Bya Lilian Nalubega

AB’EKIBIINA ky’olulimi Oluganda bavuddeyo ne balaga obutali bumativu bwabwe olwa gavumenti okulaalika nga bw’egenda okuwera okusomesa ennimi ennansi mu siniya ne bagamba nti lino kkobaane erikoleddwa okudibya n’okusaanyaawo ennono z’abantu mu bugenderevu.

Okusinziira ku kiwandiiko kye baawadde Minisita w’eby’enjigiriza e Mmengo, Dr. Fred Masagazi Masaazi era n’ebyo bye baamunnyonnyodde nga bamusisinkanye, baategeezezza nti bo nga Abaganda ky’ekiseera baveeyo okulwanirira olulimi lwabwe newankubadde ng’enkola ya gavumenti gye bavumirira ezingiramu ennimi ennansi nnyingi mu ggwanga bo ze baagambye nti newankubadde bazirumirirwa naye balina okulwanirira Oluganda kati.

“Kyewuunyisa okulaba nga n’olulimi lw’eggwanga lwe bagamba nti lwe banoonya okubangawo teruvudde ku nnimi z’amawanga 15 agakkiriziganya okuteekawo Uganda mu 1962 kyokka nga batukakaatikako Oluswayiri olutalina bantu baswayiri ng’era tebatamanyiddwa. Ennimi z’amawanga ago 15 kwe kwandivudde olulimi ne lusomesebwa ng’Olulimi lw’eggwanga wabula nga tebatataaganyizza nnimi zaffe,” bwe batyo ab’ekibiina ky’Olulimi Oluganda bwe baagambye mu kiwandiiko ekyassiddwaako omukono,  Dr. Adam Kimala ssentebe waabwe.

Baategeezezza nti Oluswayiri terulina basomesa na bitabo nga n’abantu ab’ekika ekyo tebaliiyo ate ng’olulimi oluganda olugezaako okukotoggerwa lulina ebitabo, abasomesa abasoba mu 500, lusomesebwa mu yunivasite ku ddaala lya PHD ate nga lwogerwa wonna mu Uganda, Rwanda, Southern sudan n’amawanga agatwetoolodde.

“Tulina okuba abeegendereza ennyo kubanga abantu abo baasooka kusangula Buganda ku Map ne bazzaako amasaza ne bagafuula disitulikiti ezaafuna amannya ag’ebibuga ebisangibwa mu buli ssaza  nga kati ze zibalibwa nga ezeegasse okukola Central Region so ssi Bwakabaka bwa Buganda. Kati batandise ku bantu nabo babule n’ennimi zaabwe!” Bwe bakkaatirizza.

Minisita Masagazi bwe yabadde ayanukula bannakibiina yagambye nti tebannafuna kiwandiiko kyonna kitongole ku nsonga eno era nti naye agezaako okukola okunoonyereza obukakafu kyokka n’ategeeza nti kino tekigaana Baganda kulaga butali bumativu bwabwe. 

Yabakubirizza nti nga balwana olutalo luno, baleme kukulembeza lulimi Luganda wabula ennimi ennansi mu Uganda nti kuba bakimanyi bulungi nti enteekateeka eno egenderera lulimi Luganda nga wano n’abantu abalala ab’ennimi zaabwe abazirumirirwa we banaabeegattirako.

Abasomesa b’Oluganda bawakanyizza okuluwera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...