TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abamasaza bawadde amagezi ku mutindo gwa Muteesa Yunivasite

Abamasaza bawadde amagezi ku mutindo gwa Muteesa Yunivasite

Added 30th December 2012

ABAAMI ba Kabaka ab'amasaza bawadde amagezi ku ngeri Obwakabaka gye buggya okuddukanyaamu yunivasite ya Muteesa I Royal (MRU)esobole okutuukana n'omutindo.

Bya Lilian Nalubega

ABAAMI ba Kabaka ab'amasaza bawadde amagezi ku ngeri Obwakabaka gye buggya okuddukanyaamu yunivasite ya Muteesa I Royal (MRU)esobole okutuukana n'omutindo.

Ab'amasaza mu lukungaana lwe babaddemu n'abakungu mu kitongole ky'ebyenjigiriza e Mmengo Olwakubiriziddwa Minisita Dr. Fred Masagazi Masaazi era nga lwetabiddwaamu n'abakungu ba yunivasite ya MRU baalaze okutya
olw'omutindo gwa yunivasite eno gwe baagambye nti newankubadde yeeyongera okugenda mu maaso kyokka tegusanyusa nga yeetaaga okwongerwamu amaanyi.

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Buddu, Pookino Kiyimba Kwewaayo yagambye nti abaddukanya yunivasite basaana buli luvannyuma lwa bbanga eggere okubaako lipoota gye bakola ku ngeri gye baba bakozeemu emirimu gyabwe okulaga obunafu n'ebyo ebiba bituukiddwaako nti kuba singa baba tebakoze kino kiyinza okubabeerera eky'obulabe ne batuuka ku ssa ly'okuwa lipoota eraga okugwira ddala kwa yunivasite.

Ssentebe w'olukiiko lw'ab’amasaza P.K.Ssengendo yagambye nti ab'amasaza babadde balekeddwa bbali mu nzirukanya ya yunivasite eno sso nga nabo balina kinene kye bayinza okukola olw'okugiyimirizaawo.

Ye Minisita Masagazi mu kwanukula ku nsonga zino yasazeewo ab'amasaza okwelondamu omuntu aba abakiikirira ku lukiiko olufuzi olwa Yunivasite eno era nga Mukwenda Mbalire ow'essaza ly'e Ssingo ye yalondeddwa okutwala obuvunaanyizibwa buno.

Abamasaza bawadde amagezi ku mutindo gwa yunivasite ya Muteesa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...