TOP

"Munyweze olulimi lwammwe" -Katikkiro

Added 18th March 2013

KATIKKIRO wa Buganda Ying. J.B. Walusimbi akalaatidde abayizi abasoma olulimi Oluganda wonna mu masomero okulussaako essira nti kubanga y’emu ku mpagi enkulu ezikola eggwanga lyattu Buganda n’okukuuma ennono zaffe.



 

 

Bya Lilian Nalubega

KATIKKIRO wa Buganda Ying. J.B. Walusimbi akalaatidde abayizi abasoma olulimi Oluganda wonna mu masomero okulussaako essira nti kubanga y’emu ku mpagi enkulu ezikola eggwanga lyattu Buganda n’okukuuma ennono zaffe.

Katikkiro Walusimbi yagambye nti ennimi enzaaliranwa nga ng’oluganda mw’olutwalidde zikuuma ennono z’abantu mu bitundu byabwe era nga zino ze ziyamba abaana n’abazzukulu abaliggya okumanya ebyaliwo n’ebyo bye balina okukuuma obutiribiri olw’okukuuma ebyafaayo byabwe.

Okwogera bino Katikkiro abadde asisinkanye abayizi mu ttendekero e Makerere abeegattira mu kibiina kya MakerereUniversity Luganda Students Association abaamusanze mu ofiisi ye ku Bulange e Mmengo.
Bano basoose kumukwasa ssente zebaawaddeyo okuzimba amasiro era nga Ssentebe waabwe Rashid Lukwago eyabakulembeddemu yasabye Mmengo ekwatizeeko abayizi b’olulimi Oluganda wonna mu Ggwanga basobole okulusoma n’obuvumu awatali kulutiiririra.

"Munyweze olulimi lwammwe" -Katikkiro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera eri bakkansala mu lukiiko lwa kkanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ne Town Clerk, Denis Omodi.

Balaajanye ku ky'okwerula e...

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y’e Nakawa balaajanidde Gavumenti okwerula ensalosalo za Munisipaali y’e Nakawa mu...

Taremwa (atudde) ng’agezaako okunnyonnyola ababanja ez’Emyoga.

Ez'emyoga zitabudde aba sal...

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by’abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association...

Bannamawulire okuva mu Busoga, abeetabye mu musomo.

Omukungu alaze ekyalemesa N...

Omukungu akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma n’okulabirira obutonde, Dr. Daniel Babikwa ategeezezza nti...

Ssentebe Bbaale (ayambadde enkofiira) n’abatuuze. Ow’okubiri ku kkono ye Ssendi.

▶️ Ab'e Mutundwe batabukid...

ABATUUZE mu zooni ya Kweba e Mutundwe, bavudde mu mbeera ne balumba ekkolero ly'omugagga Joseph Kiyimba, nnannyini...

Amaka ga Muzaata (mu katono).

Bamaseeka bambalidde minisi...

BAMASEEKA bambalidde minisita Nakiwala Kiyingi ku ky'okuzza Kluthum Nabunnya mu maka g'omugenzi Sheikh Muzaata...