
Bya Lilian Nalubega
KATIKKIR O wa Buganda Ying. J.B. Walusimbi akalaatidde abayizi abasoma olulimi Oluganda wonna mu masomero okulussaako essira nti kubanga y’emu ku mpagi enkulu ezikola eggwanga lyattu Buganda n’okukuuma ennono zaffe.
Bwe yabadde asisinkanye abayizi abasoma Oluganda mu yunivasite y’e Makerere, Katikkiro yanogaanyizza obukulu bw’ennimi ennansi mu kukuuma ebyafaayo mu ofiisi ye ku Bulange e Mengo.
Ssentebe wa’abayizi bano, Rashid Lukwago yasabye Mmengo ekwatizeeko abayizi b’Oluganda balusome obutalutiiririra.
Katikkiro alaze amaanyi g’Oluganda