TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'omu kibuga ky'e Lugazi basobeddwa ku bwannanyini ttaka kwe bali

Ab'omu kibuga ky'e Lugazi basobeddwa ku bwannanyini ttaka kwe bali

Added 28th March 2013

ABAKAAYANIRA ettaka mu kibuga ky'e Lugazi, balemeddwa okuleeta ebiwandiiko ebiraga obwannannyini



Bya Mukasa Kivumbi

ENKAAYANA z’ettaka okutudde ekibuga Lugazi zongedde okulinnya enkandaggo, abamu ku balikaayanira bwe balemeddwa okuleeta ebiwandiiko ebiraga obwannannyini  okubiraga meeya nga bagamba nti bbo ensonga bagenda kuzimalira mu kkooti.

Meeya Asea JB yagambye nti yasisinkanye abamu ku bagamba nti be bannannyini ttaka okwabadde  Ssenseko Kulubya n’Abembogo  oluvannyuma lw’olukung’aana olwasooka ne bakkaanya nti Kulubya y’aba asigala nga nnannyini okutuusa nga nabo bamaze okukung’anya ebiwandiiko byabwe. Kyokka kino Abalangira olwakiwulidde ne babiwakanya ne bagamba nti bagenda mu kkooti.

Yagambye nti basazeewo disitulikiti okuleeta abasaveya abagenda okwerula ensalo z’ettaka abalikaayanira we bagamba nti we liyita batuuke mu kkooti nga bamanyi ekituufu.

Abantu abasinga obungi  mu Lugazi bamaze ebbanga nga bakimanyidde ddala nti  ettaka kwebali eriweza sikweya mayiro taano n’ekitundu lya mwana w’omwami Ssenseko Kulubya kyokka ebintu byonoonese bwe wavuddeyo  abalikaayinira era ne balaga nga Kulubya bw’alirina mu bukyaamu.

Bangi batandise okweraliikirira kw’ani mutuufu ku ttaka kwebali kyokka n’olukiiko olwabadde lutudde okugezaako okusalawo eggoye   abaalwetabyeemu kyababuseeko bwe baalumaze mbagirawo  nga kimaze okutegeerekeka nga bwe waliyo n’abalala abagamba nti lyabwe olwo bonna ne basabwa okuleeta ebiwandiiko ebikakasa bye boogera bitunulwemu abakulembeze.

Bino we bigyidde ng’abantu bangi bazimbye enju ez’omulembe ku ttaka lino kyokka nga bonna tekuli alina kyapa okuggyako abatono abaaweebwa liizi . Kino kye kimu ku biruma bannannyini mayumba mu Lugazi Town Council okuba nga bazimbye amayumba gaabwe kyokka ng’abaana oba abazzukulu bayinza obutageeyagaliramu singa baliba balemeddwa okuzza liizi obuggya. Enkiiko ezibadde zituula nga buli ludda lulaga  bwe luli olutuufu zibadde zeetabwaamu abakulembeze na’abakulira ebyokwerinda  bonna.

Kulubya ng’asinziira mu lukiiko lwe yakubye mu Miyembe e Lugazi yakangudde ku ddoboozi ng’ayagala abeesiba ku ttaka lye  okuleeta ebiwandiiko byabwe.

Yabadde amaze n’okulondesa abantu ku buli kyalo mu Lugazi abagenda okukiika ku lukiiko olunene ssaako omusigere Nsimbi Sizoomu alina okudda mu kifo ky’o-mutaka Sempala eyafa  gye buvuddeko.

Kulubya  yeewuunyizza abantu abeesiba ku ttaka lya Jajjaawe Ezekeeri Mugambe  eyafa n’asikirwa kitaawe Serwaano Wokulira naye eyafa olwo ye Kulubya n’amuddira mu bigere nga yaalikuuma ku lw’abaana omunaana. 

Kulubya yabadde amaze okutegeeza nga bw’ayagala okutegeeregana n’abantu batandike okumuwa Busuulu naye abeeko ne bwaganyulwa mu ttaka lino ekitabaddewo okumala ebbanga eddene ng’abaliko tebalina kye bamuwa.

 Yajulizza omugenzi Meeya Saidi Mubarak okuba nga ye yali tasobola kuwuliriza bantu balinga bano abeesiba ku ttaka eritali lyabwe nti naye ono Meeya aliko  Asea JB Ozuma agaanye okuyimirira ku magulu ge okusalawo ekituufu era n’amusaba asituke abeeko ky’atangaaza.

Wabula mu lukiiko waliwo abavubuka abaamusoyezza ebibuuzo omwabadde okubabuulira ettaka lye gye liri. Kulubya ng’abazzeemu, baamuwakanyiza ne bategeeza nti bwe baabuza mu ofiisi y’ebyettaka, baategeezebwa nti liri Buluutwe mu  Ggombolola y’e Ngogwe. Kino kyamunyiizizza n’atandika okwogeza obukambwe.

Obutawuliriziganya bwe bwatandise okweyoleka abamu ku batuuze ne basaba ddereeva wa Kulubya amutwale olw’okwewala ebyabadde biyinza okuvaamu abantu okutwalira amateeka mu ngalo ne bakola effujjo.

Ab’omu kibuga ky’e Lugazi basobeddwa ku bwannanyini ttaka kwe bali: Ssenseko Kulubya ‘Buli omu alage bwiino’ n’abalala 2 bakaayana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...