TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayimbi bakubye oluyimbalw'amazaalibwa ga Kabaka

Abayimbi bakubye oluyimbalw'amazaalibwa ga Kabaka

Added 13th April 2013

Abayimbi ab’enjawulo beegasse ne bakuba oluyimba okumuyozaayoza era lugenda bwe luti;

 

 

 

Abayimbi ab’enjawulo beegasse ne bakuba oluyimba okumuyozaayoza era lugenda bwe luti;

AYI Ssaabasajja nze JB Walusimbi Katikkiro wa Buganda wamu n’Obuganda bwonna tukuyozaayoza okutuuka ku mazaalibwa go ag’omwaka guno; Tukwagaliza obuwanguzi ate n’okukulembera awamu n’enkulaakulana ey’omuggundu… Ayi Ssaabasajja wangaala…

Ekiddibwamu: Ehehe…Mazaalibwa ga Ssaabasajja empologoma Kabaka wange,
Awangaale omwana wa Muteesa mulabe Luwangula Mpologoma yange…

Nandujja ng'ayimba

1Nze omuzaana wo Cathy Kusaasira, Ssaabasajja nkwagaliza birthday yo ennungi, okulaakulanye
Obuganda, osomese Obuganda, olamule Obuganda ku Nnamulondo yo, happy birthday.

2 Nze omukooza wo Saava nkwebaza mu buli mbeera totulekererangako, njagala okukuwaana ennyo, njagala okukuyozaayoza nga nsaba Allah akuwangaaze…
Tukyozaayoza, tukwagaliza, tukusanyukirako Ssaabasajja ku mazaalibwa go…

3 Chris Evans Kaweesi, omuziro Nte omukiina agulidde n’ekyuma akiridde… Ayi Beene mbadde ngaleeta omulaalo aganywedde mbaagaliza amazaalibwa amalungi.. .


4 Ayi Beene nvunnamye Bebe Cool Omuganda Owenkima nkwagaliza amazaalibwa amalungi
Happy birthday ehehe…
Ekiddibwamu….

Haruna Mubiru ng'ayimba

5 Ayi Ssaabasajja Kabaka nze musajja wo Haji Ahmed Bamweyana nneegatta ku Katikkiro, bajjajjaffe
Abataka, abaana b’engoma n’Obuganda bwonna okukukulisa nnannyinimu Ssaabasajja Kabaka
okutuuka lw’amazaalibwa go Ssaabasajja Kabaka wangaala…

6 Ayi Ssaabasajja Magulunnyondo gusinze gunsinze, Kabaka Ccuucu, nze omuzaana wo Nandujja
nkulundirenga nze nkulamusizza omwami kulika amazaalibwa wangaala…………(waliwo ebigambo eby’Olungereza….)

7 Nnaayimba ntya ne sitenda nze Ssaabasajja omutonzi akukuumenga nze nfa essanyu….

8 Ayi Ssaabasajja Kabaka nze omusajja wo Kamoga Muhammad omuzira Ngabi nkwagaliza
amazaalibwa amalungi ag’essanyu Ssaabasajja Kabaka wangaala.

Chris Evans ng'ayimba

9 Nze ani atuusa obubaka ew’Omutanda walaayi, nze ani… emirembe gye watuwa tugikwebaza naffe Abente tukwesiimisa gwe asinga… Okuva lwe watukwasa omulembe tuli naawe tugende abavubuka mwenna mujje tuyimbe nti Beene awangaale…
Ekiddibwamu….

10 Gwe Beene Ccuucu, Mpologoma, Musota okusiima kwange gy’oli simanyi na we nnaalaga, ka nsabe Katonda akukuume n’ebyagaana abireete nze ndayira mu maaso go buli ky’oyagala ndikisemba w’oligwa we ndigwa nange.

11 Ye ggwe amatiza Obuganda ahaha.. ye gwe omwana wa Luwangula Muteesa nkwagaliza amazaalibwa go amalungi ate ag’emirembe ogundegunde Empologoma…

12 Olunaku olupya lukedde fireworks akoledde Omutanda atudde Obuganda buladde ekintu kiri bloody bw’ompa akawala ako ng’olwo ebbanja liwedde eng’oma zivuga nti nno ggwanga mujje okumulabako buli omu akangabadde nga kaamuje bazzukulu ba Buganda tukumba ng’amagye Kabaka mwali kati ekijja kijje…

13 Sirikutiiririra Ccuucu Ayi Beene ndi wa Kasimba musajja wo Mulumba Mathias Walukagga siriva ku mulamwa era Bbaffe bwentyo ndayira nti w’oligwa we ndigwa nkwagaliza amazaalaibwa ag’essanyu.

14 Nze Nantongo omuzaana wo nkunga Obuganda bwonna tubugirize Kabaka waffe ku mazaalibwa go kannyimbe nga nsaakaanya essanyu linzijudde nga ndi n’Obuganda bwonna nti happy birthday.

15 Twandibadde tutya Kabak w’otoba twandibadde bubi kati Buganda efa essanyu… Tusaakaanyenga,
tugulumize oyo Omutonzi atukwatiddeko n’akutukuumira…

16 Swahaba wa Kabaka nnina essanyu nnyo nnyo nnyo, okwagaliza Ssaabasajja amazaalibwa go amalungi…
Njagala nnyo okube engalo, ow’engoma nga zivuga olwaleero mazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka waffe…
Ekiddibwamu….

Abayimbi ab’enjawulo beegasse ne bakuba oluyimba okumuyozaayoza era lugenda bwe luti;

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...