
Bya AHMED KATEREGGA ne DICKSON KULUMBA
ABATAKA, abakungu, ababaka b’Olukiiko n’abaami bali ku bunkenke nga balindirira Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll okulangirira Katikkiro omuggya ekiseera kyonna.
Ensonda mu Lubiri e Banda ne mu Bulange e Mmengo zaategeezezza nti Kabaka amalirizza okwebuuza okubadde okuwanvu ennyo okuva ku bataka n’abakungu, kw’ani gw’asaanidde okukwasa Ddamula, nti era be yasembyeyo
okwebuuzaako baabadde baami ab’amasaza 18 ne bannaddiini.
Kino kiddiridde ekisanja eky’emyaka ena, ekya Katikkiro aliko, Ying. J.B. Walusimbi okuggwaako ate n’asaba Kabaka aleme kumwongera kisanja kirala, wabula n’amulagira agire ng’amulamulirako Obuganda okutuusa ng’afunye omuntu omutuufu anaamuddira mu bigere.
Bukedde bwe yatuukiridde Katikkiro J.B. Walusimbi eggulo, yamusanze mu Bulange ng’akakkalabya mirimu gye n’agamba nti eng’ambo z’okumugoba aziwulira buwulizi.
“Nze ndi musajja Muganda ow’Effumbe, sisobola kumala gasuulawo Ddamula mpozzi ebyo bikolebwa bava e Bunyoro.
Ninda bulinzi omuntu Ssaabasajja gw’anaasiima, nze nga mmukwasa buli kintu, naye nga kati emirimu nkyagikakkalabya kinnawadda.”
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Olukiiko, baminisita n’eby’amawulire Mw. Charles Peter Mayiga naye yawakanyizza eby’okugoba Katikkiro nga bwe byabadde biyiting’ana n’agamba nti singa byabadde bituufu, yandibadde abimanyi. Wabula yagaanyi okubaako ky’ayongerako ng’agamba nti ensonga z’okulonda Katikkiro za Kabaka yennyini so ssi gavumenti ya Buganda gy’ayogerera e Mmengo.
Wabula ne Munnamawulire wa Kabaka, Dick Kasolo, naye yagaanyi okubaako ky’ayogera ng’agamba nti ayogera Kabaka y’amulagidde nti noolwekyo yabadde tannabaako ky’amulagira kwogera.
Ensonda e Banda zaategeezezza nti mu kwebuuza kwa Kabaka okubadde okuwanvu, abantu bataano be basinze okusongwamu.
Mu bano mulimu; omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Ambassador Emmanuel Ssendawula, omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro, Haji Muhamud Sekimpi avunaanyizibwa ku by’obuwangwa, Ssabawolereza wa Gavumenti y’e Mmengo Apollo Makubuya , Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Olukiiko, baminisita n’ebyamawulire, Charles Peter Mayiga n’asembayo nnannyini Kampala University, Polof. Badru Kateregga.
Abasongwako bonna, tewali yakkirizza kwogera na Bukedde nga batya nti Abaganda basobola okubategeera obubi.
Balindirira Kabaka okulangirira Katikkiro omupya