TOP

Kabaka alonze Mayiga ku Bwakatikkiro

Added 11th May 2013

KABAKA alonze minisitawe ow’ebyamawulire Charles Peter Mayiga ku Bwakatikkiro bwa Buganda ng’adda mu bigere bya John Baptist Walisimbi.

 

 

 

 

Bya MARGARET ZIRIBAGGWA ne ANTHONY SSEMPEREZA

KABAKA alonze minisitawe ow’ebyamawulire Charles Peter Mayiga ku Bwakatikkiro bwa Buganda ng’adda mu bigere bya John Baptist Walisimbi.

Ensonda zaategeezezza nti Kabaka okulonda Mayiga kiddiridde okuweebwa amagezi okuva mu bantu ab’enjawulo, ku bantu abasaanye okulya Obwakatikkiro nga bagamba nti Peter Mayiga alina enkizo ku banne abalala.

Kabaka asuubirwa okulangirira Katikkiro omuggya ekiseera kyonna, aludde ng’ategeeza nti omulembe Omutebi gwa bavubuka era wano we yasinzidde okulonda Mayiga ng’anyweza
kino.

Mayiga aludde ng’atendekebwa mu bya Buganda okuva mu 1987, ate ng’akwatagana bulungi n’abavubuka era bangi abalina obukulu e Mmengo ye yabasembayo.

Ssaabasajja Kabaka ne Ddamula

Ensonga y’obukulu bw’abavubuka mu Bwakabaka yabadde ku mwanjo nnyo okusinga ensonga endala ezaabadde zireeteddwa mu kulonda Katikkiro omuggya omwabadde n’ensonga y’eddiini.

Abaabadde beesibye ku nsonga y’eddiini baabadde bagamba nti okuva ku Mulwanyammuli, Bakatikkiro bonna babadde Bakatuliki ate nga ne Mayiga Mukatuliki.

Kyokka abalala baasembye nti ng’oggyeeko ekifo kya Katikkiro waliwo ebifo ebirala eby’amaanyi omuli n’eky’amyuka Katikkiro ekirimu Hajji Ssekimpi.

Mu nkyukakyuka endala ezisuubirwa e Mmengo mulimu n’okulonda baminisita abapya nga kigambibwa nti Kabaka agenda kukendeeza ku muwendo gwa baminisita abaliwo kati era nga waliwo ne ntegekka ey’okutandika okusasula baminisita abanaaba balondeddwa ensako.

Ensonda zaategeezezza nti kabineeti eriwo kati nnene nnyo nga Buganda terina busobozi bugiwa yonna nsako kye kyavudde kisalwawo okugikendeezaako.

Olukiiko oluliwo kati nalwo lusuubirwa okubaamu enkyukakyuka nga bagamba nti lukoze ebbanga ddene, ababaka abamu tebakyakiika olw’ensonga ez’enjawulo omuli n’okubeera abakosefukosefu nga n’abalala baafa.

Charles Peter Mayiga ku kkono ng’ali ne Kabaka ng’asala keeki ku mukolo gw’abavubuka abaali baakatikkirwa.

Katikkiro Walusimbi yamazze dda okuzzaayo Ddamula, nga Katikkiro omulonde asuubirwa okukwasibwa Ddamula omwezi guno nga tegunnaggwaako mu Bulange e Mmengo.

Abantu babadde balindiridde Katikkiro omuggya okuva ekisanja kya Ying. Walusimbi bwe kyaggwako nga waliwo abantu bangi ababadde basongeddwamu okulya obukulu buno, kyokka ng’obuyinza buli eri Kabka okulonda Katikkiro gw’abeera asiimye.

Emikolo gy’okukwasa ddamula
Kabaka bw’aba akwasa Katikkiro Ddamula amugamba nti ‘Nkukwasa Ddamula ono, genda onnnamulireko Obuganda awatali kubutiiririra’.

Olwo Katikkiro gwe babeera bakwasizza Ddamula aba n’eggye ly’Abeekika kye eririna okumukuuma baleme kubaggyako Ddamula kubanga ebika bingi ebiba byegwanyiza obukulu buno era ke bageza ne bamuggyako Ddamula ng’obukulu bumufudde. Mayiga yeddira Mutima.


Katikkiro J.B.Walusimbi mu biddugavu lwe baamukwasa Ddamula mu 2008.

Charles Peter Mayiga y’ani?
Charles Peter Mayiga azaalibwa Kasanje Kabonera Masaka bazadde be ye Ssaalongo Cyprian Mukasa ne Nnaalongo Rebecca Kyese Mukasa.

Munnamateeka akolera mu kkampuni eya Buwule and Mayiga Advocates. Pulayimale yagisomera Butale ne Nkoni eno gye yava n’agenda mu St. Henry’s Kitovu, n’oluvannyuma n’agenda mu St. Mary’s Kisubi. Eno gye yava n’ayingira Makerere yunivasite n’asoma ddiguli mu mateeka.

Mukyala we ye Margaret Mayiga ono yasomera Trinity College Nabbingo. Baagattibwa mu bufumbo obutukuvu mu 1987.

Mayiga ng’ali e Makerere y’omu ku baatandika ekibiina ky’abayizi ekya Nkobazambogo wakati mu bugubi, kubanga kyali kigaaniddwa nga balowooza nti kya byabufuzi.

Mu 1991 mu nteekateeka z’okuzzaawo Obwakabaka, Abaganda abatutumufu okwali John Katende, Omutaka Nadduli Kibaale, Omutaka Grace Ndugwa, Joseph Musoke Kayita baasisinkana ewa Rabbi Mulondo, wano Katende n’ayingizaawo Mayiga okuyamba okuwandiikira olukiiko lw’abataka ng’ali ne Rev. Dan Kajumba.

Obwakabaka bwe bwazzibwawo mu 1993, Peter Mayiga yalondebwa ku bwamnisita w’ebyamawulire era nga y’ayogerera Obwakabaka bwa Buganda.

Charles Peter Mayiga ku ddyo ng’ali ne sipiika Haji Sserunkuuma.

Katikkiro J.B Walusimbi by’akoze
KATIKKIRO J.B Walusimbi aweerezza Obwakabaka okumala emyaka etaano. Kabaka Ronald Mutebi yalonda Katikkiro J. B. Walusimbi mu 2008, n’amukwasa ddamula.

Walusimbi yali asabye Kabaka amuwe ekisanja kimu kyokka naye bwe kyaggwaako omwaka
oguwedde Kabaka n’asiima yeeyongere okufuga amuwe ekiseera okulonda Katikkiro omuggya bwatyo Walusimbi n’ayisa mu kisanja kye okutuusa Kabaka bw’alonze amuddira mu bigere.

Ebizibu byasanze:
Katikkiro mu kisanja kye aleese pulojekiti eziwera kyokka asanze okusoomozebwa kungi e Mmengo.

Pulojekiti ey’Omumuli gye yaleeta ng’ayagala abantu ba Buganda okwekulaakulanya yagaana okujjumbirwa abakulembeze ku mitenedera gya wansi.

Entalo mu bukundi obw’enjawulo e Mmengo nazo zikoze kinene okumulemesa okutuukiriza ebigendererwa bye wamu n’okuwakanyizibwa abavubuka.

Mu kisanja kye wabaddewo enkulaakulana erabiddwa mu Buganda nga muno mubaddemu
okuzimba ekizimbe kya Muganzirwazza e Katwe.

Asobodde okutalaaga Buganda yonna ng’akunga abantu okukola ennyo okweggya mu bwavu.

Kabaka alonze Mayiga ku Bwakatikkiro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....