TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakansala b'e Mityana bataamye olw'ekyapa ky'ettaka ly'embuga y'e Singo ekyakyusibwa

Bakansala b'e Mityana bataamye olw'ekyapa ky'ettaka ly'embuga y'e Singo ekyakyusibwa

Added 29th July 2013

ENSONGA z’ekyapa ky’ettaka okuli embuga y’essaza ly’e Singo zirinnye enkandaggo bakansala ku disitulikiti ne bawera obutaddamu kulinnya mu nkiiko za ‘kkanso’, singa ekyapa kino ekyakyusibwa ne kiteekebwa mu mannya ga disitulikiti y’e Mityana tekizzibwa Mmengo.Bya KIZITO MUSOKE 

ENSONGA z’ekyapa ky’ettaka okuli embuga y’essaza ly’e Singo zirinnye enkandaggo bakansala ku disitulikiti ne bawera obutaddamu kulinnya mu nkiiko za ‘kkanso’, singa ekyapa  kino ekyakyusibwa ne kiteekebwa mu mannya ga disitulikiti y’e Mityana tekizzibwa Mmengo. 

Kansala akiikirira eggombolola y’e Kalangaalo ku disitulikiti, Ronald Keeya era nga y’akulembeddemu kaweefube ono agamba nti, obukulembeze bwa disitulikiti obwali mu buyinza mu kiseera wakati wa 2006 ne 2011, bwakyusa ekyapa ky’ettaka  eriweko yiika 52 erimanyiddwa nti lya Kabaka nga kwe kuli n’embuga y’essaza ne baliteeka mu mannya ga disitulikiti n’ekigendererwa ky’okulibba.

 Keeya agamba nti wakati mu kuwakanyizibwa okuva mu bantu abeenjawulo, abakulembeze ba disitulikiti beesitula ne bagenda e Mmengo ne basisinkana Katikkiro Muliika ne bamukakasa bwe bagenda okukyusa ettaka lino balizzeeyo e Mmengo. Kyokka baatuuka kuva mu buyinza nga tebalizzizzaayo.

Agamba nti gye buvuddeko yawandiikira ofiisi ya sipiika ebbaluwa ng’ayagala bamunnyonnyole awakuumirwa  ekyapa kino n’ensonga ezikyabagaanyi okukizza e Mmengo era ng’ayagala ensonga eno eteekebwe ku lukalala lw’ebintu by’okuteesaako mu kanso eyatuula mu June.

Annyonnyola nti kyamwewuunyisa okutuuka ku lunaku lwa kkanso ng’ensonga eno teri ku lukalala ku nsonga ezaali zirina okuteesebwako ne bamutegeeza nga bwe kyali kijja okuteesebwako mu kkanso eneetuula mu August. Agamba nti mu kkanso eddako ensonga eno, bw’eteebeere ku bye bagenda okuteesaako, nga ba kansala, tebajja kugirinnyamu. 

Kansala ku Town Council, Fred Wotonnava  yagasseeko nti, “singa tunaatuula ne watabeerawo kunnyonnyolwa kulung’amu, tujja kufuluma mu kkanso, kuba bwe twali tulondebwa twamatiza abalonzi okulwanirira ensonga za Buganda.”

Ekyapa ky’ettaka lino kwe kuli embuga y’essaza ly’e Singo awali ennyumba Matutuma era kwe kuli n’ekisaawe ky’essaza ekyakazimbibwa nga kuliko n’abatuuze abawera abagambibwa okulyesenzaako ne bazimbako amayumba.

Ensonda ku disitulikiti e Mityana zaategeezezza ng’ekyapa kino bwe kiri ku disitulikiti e Mityana era nga kituufu kyakyusibwa ne kiteekebwa mu mannya ga disitulikiti, oluvannyuma lw’okusaba ekitongole kya Uganda Land Commission ekyali kiriddukanya, nga baagala okuzimbako ekitebe kya disitulikiti.

Kyokka oluvannyuma disitulikiti ensonga eno yagiggyamu enta n’egula ettaka eddala, ku kyalo Kkunywa gy’ezimba ekitebe kyayo. 

Ssentebe wa disitulikiti, Deborah Kyazike Kinobe yategeezezza nti bagenda kutangaaza ku nsonga eno mu bwangu ddala.

Uganda Land Commision ennyonnyodde

Ssentebe w’akakiiko k’ebyettaka, Jehoash Mayanja Nkangi agamba nti ettaka lino lye limu ku eryo Buganda ly’ekyabanja Gavumenti ya wakati, nga kwe kuli embuga z’amasaza. Ekitongole kirina obuvunaanyizibwa okulikuuma, kyokka nga terikuumibwa.

Nkangi agamba nti ekya disitulikiti ye Mityana okukyusa ekyapa kino abadde takimanyiiko, era ng’agenda kwongera okukinoonyerezaako. Kyokka bwe baba nga baalikyusa ne balifuula Free Hold, disitulikiti terina buyinza buzzaayo ttaka lino Mmengo.

Ettaka lino lisobola okuddayo, singa wabeerawo okuteeseganya wakati wa Mmengo ne gavumenti, olwo ekitongole ne kiteeka mu nkola ebibeera bikiragiddwa. Yawadde Mmengo amagezi okukozesa ennyo omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga, Edward Kiwanuka Sekandi, kuba pulezidenti yamukwasa dda obuvunaanyizibwa buno.

 

Bakansala b’e Mityana bataamye olw’ekyapa ky’ettaka ly’embuga y’e Singo ekyakyusibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebunnya

Ssebunnya alambuludde ebyas...

OMUWABUZI wa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda, Robert Ssebunnya avuddeyo n'ayogera ku mbeera y'ebyokulonda...

Nabirah.

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago...

Bano baabadde ku boodabooda nga batwala omulwadde mu ddwaaliro.

Basonze ku kyasuddeMuseveni...

ABATUUZE mu disitulikiti y'e Mayuge n'abakulembeze boogedde lwaki Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine' owa NUP...

Cranes eyasamba Congo Brazaville e Kumasi .

Cranes lwe yasimattuka okuf...

EMIZANNYO gizze gigwamu ebikangabwa eby'amaanyi ne mufiiramu abazannyi. Ebimu ku bino bwe bubenje bw'ennyonyi okugeza;...

Abazannyi ba Gomba nga basanyikira emu ku ggoolo ezaateebeddwa Charles Bbaale (asitamye ku kkono).

Gomba ne Buddu zifungizza k...

BANNABUDDU n'abava e Gomba essanyu katono libaabye eggulo, ttiimu zaabwe bwe zeesozze semi y'empaka z'omupiira...