TOP

Kabaka agguddewo olukiiko lwa Buganda olwa 21

Added 12th August 2013

KABAKA Mutebi II agguddewo Olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 21 bukya atuula ku Nnamulondo era nga ne baminisita be abaggya leero lwe beeyanzizza obwami mu butongole.

 


Bya Dickson Kulumba

KABAKA Mutebi II agguddewo Olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 21 bukya atuula ku Nnamulondo era nga ne baminisita be abaggya leero lwe beeyanzizza obwami mu butongole.

 
Kabaka yeebazizza abantu Obuganda olw'okwagala Obwakabaka bwabwe mu bbanga ery'emyaka 20 egiyise n'agamba nti singa Obuganda bunaagendera ku nsonga Katikkiro ze yayanja, tewali kubuusabuusa Buganda yaakukulaakulana.
 
" Tusiima ensonga Katikkiro ze yayanja mu lukiiko olwayita singa abantu baffe banaazigenderako, tewali kubuusabuusa Obuganda bwakugenda mu maaso," Kabaka bwe yalagidde ku mukolo kwe yagguliddewo olukiiko lwa Buganda olwa 21.
 
Kabaka ng'afuluma Bulange - Mmengo oluvannyuma lw'okuggulawo olukiiko lwa Buganda olwa 21 ku Mmande.
 
Kabaka yatuuse e Bulange Mmengo ku ssaawa 5:00 ez'oku makya ng'awerekeddwako Nnaabagereka Sylivia Nagginda, n'abalangira okwabadde; Wasajja ne Jjunju era n'alamusa Mujjaguzo oluvannyuma ne yeesogga ekizimbe omuteesezebwa.
 
Olukiiko lwatandise ne baminisita abaggya okweyanza obwami nga kuno kwabaddeko Ying. Martin Kasekende- ow'ebyettaka, Waggwa Nsibirwa- Kusiga nsimbi, Rita Namyalo Kisitu- Wa byabusuubuzi, Yusuf Wamala Gagganga- wa byabuwangwa, Joseph Kawuki- Mubeezi wa gavumenti ez'ebitundu, Henry Ssekabembe- Wa bavubuka n'okwewummuza, Slyvia Mazzi- Mubeezi w'okunoonyereza ne Dr. Kiwanuka Mukwaya ow'ebyobulamu.
 
Kakaba ng'awuubira Obuganda. EBIF/ DICKSON KULUMBA
 
Kabaka yayozaayoozezza abaami abaafunye obukulu n'abaagaliza okuweereza obulungi mu mirimu gyabwe emiggya mwe baalondeddwa.
 
Mu kwogera kwe Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza Kabaka olw'okumuwa ttiimu ya baminisita ey'amaanyi n'alaga essuubi nti bagenda kuweereza Obuganda okubutwala mu maaso.
 
Abalala abaabadde ku mukolo guno ye Nnamasole wa Buganda, Margaret Siwoza, Nnaalinya w'e Kasubi Tebattagwabwe, Katikkiro eyawummula Mulwanyammuli n'abalala bangi.

 

Kabaka agenda kuggulawo Olukiiko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...