TOP
  • Home
  • Amawulire
  • KIGGUNDU:Afudde musanyufu olw''okuvuga Kabaka ku mbaga ye

KIGGUNDU:Afudde musanyufu olw''okuvuga Kabaka ku mbaga ye

Added 17th September 2013

EZEKIEL Kiggundu Kawuki Maneeno 67, afudde yeewaana olw''okuvuga Kabaka ne Nnaabageraka ku mbaga yaabwe mu August wa 1999!





Bya ANTHONY SSEMPEREZA NE MADINAH NALWANGA

EZEKIEL Kiggundu Kawuki Maneeno 67, afudde yeewaana olw'okuvuga Kabaka ne Nnaabageraka ku mbaga yaabwe mu August wa 1999!

Abantu bangi bo babadde beewuunya Kiggundu eyeddira Enkima engeri gye yakongojjamu Kabaka sso ng'ennono ekkiriza ba Mbogo okukongojja Kabaka. Wabula nga tonnaba kusiikuka mmeeme, Kabaka ye yasiima Kiggundu okumuvuga.

Mmotoka ekika kya Lincoln Kabaka mwe yatambulira Kiggundu yekka ye yali asobola okugivuga mu ggwanga lyonna mu kiseera ekyo.

Kiggundu nga tannafa yayogerako ne Bukedde ku nsonga eno: Akakiiko akaaweebwa omulimu gw'okunoonya mmotoka z’okutambuza Omutanda bwe kaasalawo okutwala mmotoka eno, Kabaka agirabe, baagiwa nze ne ngoza n'okugisiimuula.

Nalagirwa okugitwala e Kololo Kabaka agirabe, era olwagikubako amaaso n'agamba nti 'Temuddayo kunoonya mmotoka ndala eyo emala!”

Oluvannyuma yambuuza amannya gange gonna ne ngamugamba wabula yakwatako lya Kiggundu."
Kiggundu yategeeza nga mulamu nti ne ku lunaku lw'embaga ya Kabaka bwe yali agenda okuvuga Kabaka hajji omu yamukeera n’amugamba nti, “Ggwe Kiggundu eyeddira Enkima mmotoka bw'eneekufaako olwo Kabaka onoomukola otya ggwe atali wa Mbogo?” Kiggundu teyamuddamu ye n'agenda bugenzi kubanga Kabaka ye yali asiimye.

Kigunda mu bintu bye yasinga okwegendereza ennyo ng’avuga Kabaka, ebirowoozo byonna yabissa ku mmotoka, era nti Kabaka yatuuka n’okumubuuza nti, "Emmotoka eno teriimu leediyo?" Ko Kiggundu nti Ssaabasjja mw'eri, ko ye nti teekako, yakyusa okutuusa Kabaka bwe yamuyimiriza. Olwo Kigundu ng'emmotoka agivuga sipiidi 10 zokka!

Kiggundu abadde munyumya era ku lw'embaga ya Kabaka abadde akyajjukira bulifukeesi ya Kabaka enkaddekadde, Kabaka gye yasooka mu mmotoka n’agituuza kumpi naye, olwo erudda n’etuulayo Omumbejja.

Omugenzi Kiggundu ne nnamwandu Nangobi
gye buvuddeko.

Nnamwandu Margaret Nangobi Kiggundu agamba nti bba abaddenga anyumya nti bulifukeesi yamussa (Kiggundu) ku bunkenke sikulwa bagibba, era ng'emmotoka w'ebeera taviirawo dddala.
Wabula Kiggundu afudde ajjukira ebigambo Kabaka bye yamugamba ng'amaze okubavuga ne Nnaabagereka ku mbaga.

Abaddenga akyogera lunye nti Kabaka yamugamba: “Kiggundu weebale kutuvuga bulungi! Rabbi Mulondo mwebaze okutuwa mmotoka.”

Ebyo Kabaka olwabimaliriza, Kiggundu n'aggya bendera ya Buganda ku mmotoka n'agiwa omukuumi ye n'avuga mmotoka n'agizza e Kireka ewa Rabbi Mulondo.

N’okutuusa kati Rabbi Mulondo mmotoka eno agiwa ekitiibwa olwa Kabaka okugituulamu.
Kiggundu wadde talina kantu konna ke yalya ku mbaga ya Kabaka, kyokka agamba nti enjala teyamulumako. Afudde asabirira osanga aliddayo embuga, alye ku by'ataalya kw'olwo naye olumbe lubbi!

EBIFA KU KIGGUNDU
KiGGUNDU mutabani wa Misuseeri Kawuki ne Janet Namakula kati abagenzi, yazaalibwa mu 1944.
Bano baali batuuze b'e Kookootero- Kanjuki mu Bugerere.

Kiggundu yasomera Kisowera P/s , bwe yamalako n'agenda e Nairobi okusoma ebyobusuubuzi era yakuguka mu bwakitunzi.

Kyokka obwakitunzi teyabukola nnyo n'okuyingira obuserikale bwa poliisi nga bakyayambala empale ennyimpi. Yali ku nnamba 4902 ng'akolera Fort Portal era ye yavuganda abasibe baayo.

Oluvannyuma yannyuka omulimu ogwo n'atandika okuvuga sipensulo e Kampala ku mulembe gwa Idi Amin ng'avuga Anglia.

Bwe yafuna ku ssente, yatandikawo galagi ekanika emmotoka e Kireka. Kojjaawe Rabbi Mulondo alina bawala be mu Amerika, bwe baamusindikira emmotoka ey'ekika kya Lincoln, Kiggundu gwe baatuma e Mombasa okugivuga okugireeta olugendo olwamutwalira omwezi mulamba!

Eno y'emmotoka Kiggundu gye yavuga ku mbaga ya Kabaka.

Afudde musanyufu olw''okuvuga Kabaka ku mbaga ye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...