TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obwakabaka bubuuliriza ku batunda ettaka ly'ebika

Obwakabaka bubuuliriza ku batunda ettaka ly'ebika

Added 4th November 2013

ENGERI ettaka lye bika ebyenjawulo gye liggwaawo nga litundibwa, ewalirizza Katikkiro wa Buganda, okubiyingiramu n’alagira Ssabawolereza we gavumenti ye Mengo, okuyamba ebika ebyenjawulo okulaba nga biteekawo obukiiko obunaakuumanga ettaka lino, kireme kubeera nga livunanyzibwako omuntu omu omukulBya Kizito Musoke

ENGERI ettaka lye bika ebyenjawulo gye liggwaawo nga litundibwa,  ewalirizza Katikkiro wa Buganda, okubiyingiramu n’alagira Ssabawolereza we gavumenti ye Mengo, okuyamba ebika ebyenjawulo okulaba nga biteekawo obukiiko obunaakuumanga ettaka lino, kireme kubeera nga livunanyzibwako omuntu omu omukulu wa kasolya nga bwe kibadde.

Ebika ebyenjawulo ebyenjawulo biri mu katyabaga nga n’ebimu bisigazza buwugiro ku butaka ate nga waliwo ne kika ekyetundako ettaka lyonna ne liggwaawo nga mu kiseera kino tebalina wadde ekiggwa kye kika.

Katikkiro Charles Mayiga waabiyingiriddemu nga waliwo enkaayana mu kika kye Nte, ng’abazzukulu abamu balumiriza omukulu we kika Katongole Sam Mugatta Miwanda okutunda ettaka lye kika eriri e Katwe mu kibuga. Ettaka lino kigambibwa nti okusooka zaali yiika musanvu, kyokka mu kiseera kino erisigaddewo liweza yiika emu ne kitundu.

Kyokka te waliwo ne bigambibwa nti ne lino lyantundiddwa, era nga mu kiseera kino abantu abalikolerako okuli abaweesa, bamakanika n’abakolerako emirimu emirala baaweereddwa dda ebbaluwa ezibawa emyezi esatu, nga ziva ew’omutaka Katongole nga zibagoba mu kifo kino.

Kyokka katikkiro ensonga yaziyingiddemu n’ayimiriza eky’okusengula abantu abakolera ku ttaka lino, era n’awa Ssabawolereza we Mengo, owek. David Mpanga okuyingira mu nsonga zino era ayambe ne bika ebirala okuteekawo obukiiko obuddukanya ettaka lino, mu kifo ky’okudduaknyzibwa omukulu wa kasolya yekka nga bwe kibadde.

Ettaka litundiddwa erye bika ebirala.

Ekika kya Kayozi mu kiseera kino tebakyalina butaka, oluvannyuma lwokutunda ettaka lyabwe lyonna, era tebalina wadde ekiggwa kye kika. Bano basibuka Nsana mu muluka gwe Kyanjo mu Mawokota, era ng’abazzukulu bwe babeera bakung’anye bafuna amaka g’omutuuze ku kyalo eyeddira Akayozi ne bakung’anira awo. Akulira ekika omutaka Emmanuel Damba Kafumu agamba nti waliwo abantu abaali balidde nsowole nga be baatunda ettaka lye kika okutuuka ku kino.

Abe kika ky’olugave bali mu nkaayana ng’abamu balumiriza bannaabwe okutunda ettaka lye kika kwagala kulimalawo era nga mu kiseera kino basigadde mu buwugiro. Salongo Musoke Jooga nga y’akulira olubiri lwa jajja w’obolugave Mukiibi olusangibwa e Kapeeka mu Busiro, agamba nti ettaka lye kika lingi litundiddwa era nga ne kyalo kye Nkonya, eryali erye kika mu kiseera kino waliwo bimuli. Ku butaka bwe Katende nayo wasigadde buwugiro, gattako ne Kapeeka, era nga waliwo abanene mu kika be balumiriza okulitunda.

Omwaka ogwaggwa omukulu we kika kye Nseenene, omutaka George Kalibbala Nsozi, abazzukulu baatuuza olukiiko ne basalawo okumujjako ekifundikwa kye kika nga bamulumiriza okutunda ettaka lye kika okulimalawo erisangibwa e Nsiisi mu Busujju. Kyokka eyali katikkiro wa Buganda Walusimbi, ye yayingira mu nsonga zino era naayimiriza okusalawo kwa bazzukulu abaali bakaaye okukira omususa.

Abe Mmamba Kakoboza bali mu kkooti nga bawerenemba n’abantu abamu abagamba nti waliwo abaagula ettaka lye kika ku butaka e Bukerekere mu Busiro nga liwezaako obunene bwa mayiro bbiri. Omuwandiisi owe kyama ow’omutaka Nankere, Haji Kitaka Kavulu, yagambye nti ettaka lino balina essuubi nti bajja kulinunula, era ng’ensonga bazikwasizza maanyi. Aba Kakoboza era balina ne ttaka lye kika lye bakyakaayanira n’abantu abamu nga liri Mpeggwe ate eddala

Obwakabaka bubuuliriza ku batunda ettaka ly’ebika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....