TOP

Ababaka basonze obukadde 150 ez''Amasiro

Added 19th November 2013

ABABAKA ba Palamenti basonze obukadde 150 ziyambeko mu kuzzaawo AmasiroBya MUWANGA KAKOOZAABABAKA ba

ABABAKA ba Palamenti basonze obukadde 153 ez'okuzzaawo Amasiro.

Kino kiddiridde Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga okukyala mu Palamenti olwaleero (Lwakubiri) mu kaweefube w'okusionda ensimbi z'okuzzaawo Amasiro, gy'aweeredde ababaka amagezi nti omuntu akwata eky’okubiri mu kulonda kw’obwa Pulezidenti akkirizibwenga okukiika obutereevu mu palamenti akulirenga oludda oluvuganya.

Mayiga yagambye nti kino kijja kumalawo okusika omuguwa okubeerawo ku ani alina okukulira oludda oluvuganya.

Yagambye nti akulira oludda oluvuganya lwa mugaso mu kuwabula Gavumenti n’awa amagezi nti bwe wabaawo ekirungi ekikoleddwa Gavumenti naye asaanye okusiimwa.

Katikkiro ng'abuuza ku sipiika Kadaga mu ofiisi ye. Ekif: Dickson Kulumba

Bino Katikkiro eyabadde akyadde ku Palamenti okukung'aanya ssente z'Amasiro yabitegeezezza ng'ali mu ofiisi y'akulira oludda oluvuganya Gavumenti, Nandala Mafabi. Ensimbi obukadde 153 ze zaasondeddwa.

Eno gye yavudde okugenda ewa nnampala w’ababaka ba NRM, Justin Kasule, Lumumba gye yasisinkanidde abakulira akabondo ka NRM ne bamukwanga obukadde mukaaga. Era Lumumba gye yasabidde abakulembeze b’ennonno ne bannaddiini okuwabulanga ebintu ebiba bitatambudde bulungi nga basisinkana abakungu ba Gavumenti mu buntu mu kifo ky’okusinziiranga mu mawulire.

Ababaka nga banyeenya ku galiba enjole. EKIF: DICKSON KULUMBA

Katikkiro yagambye nti Kabaka muzadde era akung’aanya abantu bonna wabula n’agamba nti ye ng’omuntu tayinza kuganya muntu avvoola Kabaka.

Yasabye aba NRM obuteeyambisa bungi bwabwe mu Palamenti okuyisa amateeka aganyigiriza ab’oludda oluvuganya.

Minisita Amelia Kyalbadde ng'assa omukono ku ceeke eyaweereddwaayo baminisita ba kabineti. Amuddiridde ye Deo Kiyingi, omuwanika w'akabondo k'ababaka ba Palamenti abava mu Buganda. DICKSON KULUMBA

Ng’ayogera ku kukyala kwa Mayiga , sipiika Rebecca Kadaga yagambye nti bagenda kunyweza enkolagana ya Palamenti ne Buganda. N’agamba nti okukyala kuno kwabadde bwa byafaayo kuba kwe kusoose mu byafaayo bya Palamenti.

Katikkiro yagambye nti buvunaanyizibwa bwa Palamenti okukuuma eby’obuwangwa bya Bannayuganda bonna.

Yayongeddeko nti Kabaka ayagala ababaka ba Palamenti bakolenga amateeka olw’obulungi bwa Bannayuganda nga gakuuma obumu.

Katikkiro Mayiga ng'awandiika mu kitabo ky'abagenyi mu ofiisi ya akulira oludda oluvuganya Gavumenti. Ekif: Muwanga Kakooza

‘’ Uganda nnenne nnyo ffene etumala naye tusaanidde okuyiga okuwuliriza abantu ababa balina kye boogera wamu n’abo ababaako bye beemulugunya ,‘’ Katikkiro bwe yagambye.

Kyokka yewuunyizza okulaba nga lipooti y’okuggya kw’Amasiro tefulumizibwanga kati emyaka ebiri bukyanga gateta!

Wabula Minisita w’ekikula ky’abantu, Lukia Nakadaama, yagambye nti akakiiko akabuuliriza ku kuggya kw’Amasiro gano kaafulumya lipooti n’etwalibwa mu lukiiko lwa baminisita era enaatera okufulumizibwa.

Katikkiro yasabye abakumbeze okuba n’amazima n’obwesimbu. Yagambye nti ebizibu bya Bannayuganda bifaanagana.

Sipiika Rebecca Kadaga yagambye nti ebyaliwo mu 1966 ne 1967 ng’Obwakabaka buggyibwawo bisaanidde okudda ebbali.

Wano Katikkiro Mayiga ng'ayanirizibwa ku Palamenti. EKIF: MUWANGA KAKOOZA 

Oluvannyuma lw’okulya eky’emisana, Katikkiro yagenze mu Palamenti n’atuula mu kifo awatuula abakungu Palamenti n’eyisa ekiteeso ekisiima abakumbeze ba Buganda omuli Kabaka Ronald Mutebi ne Bakatikkiro bonna omuli Charles Peter Mayiga n’abalala abavaako nga Mayanja Nkangi, Dan Muliika, Mulwannyammuli Ssemwogerere.

Ababaka basonze obukadde 150 ez''Amasiro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...