TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ttabamiruka 2013: Bakkaanyizza ku bigenda okuzza Buganda ku ntikko

Ttabamiruka 2013: Bakkaanyizza ku bigenda okuzza Buganda ku ntikko

Added 23rd December 2013

ABAGANDA bakubiriziddwa okukyusa endowooza yaabwe, bakole n’amaanyi okwekulaakulanya mu buli kimu mu Uganda empya, Buganda bw’eba yaakudda ku ntikko.



Bya DICKSON KULUMBA

ABAGANDA bakubiriziddwa okukyusa endowooza yaabwe, bakole n’amaanyi okwekulaakulanya mu buli kimu mu Uganda empya, Buganda bw’eba yaakudda ku ntikko.

“Okuva ku matikkira ga Kabaka mu 1993, Buganda yafuuka mpya bwetyo n’eyingira mu Uganda empya n’olwekyo Buganda erina okukomya okutunuulira ekifaananyi kyayo mu myaka egy’edda wabula amagezi gasalibwe ku ngeri ki embeera abantu baayo mwe bali,” Peter Kimbowa bwe yawabudde nga kye kimu ku biteeso ebyayisiddwa mu Ttabamiruka wa Buganda 2013 eyabadde ku Hotel Africana wiiki ewedde.

Ttabamiruka ono yabadde wa mulundi gwamukaaga nga yabumbujjidde wansi w’omulamwa ‘Okufumiitiriza ku Bwakabaka bwa Buganda nga bwe bunaabeera mu myaka 20 egijja n’okusingawo.’

Omumbejja Gertrude Nnabanakulya, Nnaalinya Tebattagwabwe ne Ssaabalangira Moses Kayima.

Yayogereddwaamu abakugu mu byobufuzi n’ebyenfuna okwabadde Polof. Joe Oloka Onyango, Polof. Augustine Nuwagaba, eyayogedde ku bukulembeze obusaanidde mu Afrika n’agamba nti abayivu be bayiyeeyo ensi zaabwe olw’obuteenyigira mu kutereeza bukulembeze bwazo.

Omwogezi omulala yabadde Mungereza Peter Sage eyagambye nti buli muntu atandikirewo okukola omulimu omuva ensimbi ate Polof. Fredrick Ssempeebwa n’ayogera ku mukago gw’obuvanjuba bwa Afrika.

Minisita w’ebyensimbi mu ggwanga, Maria Kiwanuka yalaze ebintu abantu mu Buganda bye balina okuteekamu ssente ne bafuna sso nga Katikkiro Charles Peter Mayiga yalaze ebintu ebirina okusooka okukolebwa mu myaka etaano nga Buganda tennayingira mu myaka 20.

Katikkiro (ku ddyo) ng’abuuza ku Mulangira Wasajja.

Yagambye nti Buganda tesobola kuyingira mu mukago gwa East Africa ng’ate omukago gwe yayingiramu mu Uganda, tegunnagiyisa bulungi.

  1. Ebiteeso ebirala ebyayisiddwa kuliko Buganda okusobozesa n’okuyamba wabeerewo Ttabamiruka wa Uganda yonna okuteesa ku nsonga z’obukulembeze ne Ssemateeka.
  2. Okukwatagana, okuperereza ebitundu ebirala okulaba nga bigula enkola y’enfuga ya Federo olw’okukulaakulanya eggwanga.
  3. Kyasaliddwawo nti Buganda erina okulongoosa n’okutereeza ebiwandiiko byayo ng’eteekawo etterekero ly’ebitabo.
  4. Polof. Onyango yawadde Buganda amagezi ewandiike Ssemateeka waayo alaga buli kintu bwe kirina okutambuzibwa.
  5. Buganda yeekenneenye omukago gw’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika n’okwagazisa abavubuka okukola emirimu gy’ebyemikono okufuna emirimu.
  6. Kyasaliddwaawo ebika bikozesebwe nga yingini y’ebyokwekulaakulanya nga bikuuma ettaka okukolebwa emirimu omuva ssente n’okukulaakulanya abazzukulu ssaako okukolagana ne bannayuganda abali ebweru mu nkulaakulana.

Peter Kimbowa

Abakugu bawabudde ku mikolo gy’embaga

  • Mu nkulaakulana yonna erowoozebwako, abakiise baasabye waleme kubeerawo muntu yenna alekebwa wabweru ate n’abantu ne balagirwa okukyusa enkola gye bakolamu embaga n’emikolo emirala ebitwala ennyo ssente ne kireka bangi mu bwavu.
  • Okusobola okufuna ebirowoozo okuva mu buli bitundu bya Buganda, kyakkaanyiziddwaako Ttabamiruka akolebwe ku mitendera okuva wansi okutuuka ku masaza ng’owa buli mwaka tannatuuka n’okubeerako ebikolebwa ku nsonga eziyisiddwa.

Olukungana luno lwaggaddwaawo Katikkiro Mayiga eyagambye nti ebyenfuna n’embeera z’abantu ze zigenda okusooka okuteekebwako essira.

Ttabamiruka 2013: Bakkaanyizza ku bigenda okuzza Buganda ku ntikko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...