TOP

Nnaabagereka aggaddewo ekisaakaate

Added 20th January 2014

Minisita w’ebyenjigiriza ebya waggulu, John Chrysostom Muyingo asabye Maama wa Buganda, Nnaabagereka Sylivia Nagginda ekissakaate akiggye mu baana abali wansi w’emyaka 20 gyokka wabula akyongereyo ne mu bannabyabufuzi okusobola okuyambako okubazzaamu obutuntubulamu.



Bya Henry Nsubuga ne Lillian Nalubega
Minisita w’ebyenjigiriza ebya waggulu, John Chrysostom Muyingo asabye Maama wa Buganda, Nnaabagereka Sylivia Nagginda ekissakaate akiggye mu baana abali wansi w’emyaka 20 gyokka
wabula akyongereyo ne mu bannabyabufuzi okusobola okuyambako okubazzaamu obutuntubulamu.

Muyingo agamba nti bannabyabufuzi bangi mu Uganda tebakyalina mazima, obuntubulamu
n’obukkakkamu wadde nga bano bali mu bufo eby’amaanyi.

Okwogera bino, Muyingo yabadde ayogera mu kuggalawo ekisaakaate kyomunaana ekimaze
wiiki ebbiri ku ssomero lya Seeta High Green Campus e Mukono mu ssaza ly’e Kyaggwe ku Ssande.

Abaana 450 be beetabye mu kisaakaate ky’omulundi guno nga kibadde ku mulamwa ogugamba
nti “Laba, yiga, kola.” “Njagala tukkiriziganye bannange, okusinziira ku bye tulabye ne bye tuwulidde ebikoleddwa mu kisakaate, maama Nnaabagereka asaana ategekeyo ekisaakaate nga kyaffe ababaka ba palamenti ne bannabyabufuzi ku mitendera egya wansi okusobola okutuzzaamu obuntubulamu.

Akageri Nnaabagereka gy’awomye omutwe mu kuzzaawo obuntubulamu mu miti emito, n’abantu abakulu okutandika ne bannabyabufuzi, abazadde, abasomesa n’abakulu b’amasomero
nabo nkusaba obalowoozeeko okubateerawo ekisaakaate kuba kijja kuyambako okumalawo enguzi,
obulyake n’obukumpanya,” Muyingo bwe yagambye.

Nnaabagereka yagambye nti abantu bangi basaba ekisaakaate kitwalibwe mu bitundu byabwe
ebiri wabweru wa Buganda naye balina enteekateeka ennungamu gye bagoberera mu kukiddukanya
ng’era balina obukakafu nti kyakutuusibwa mu buli kanyomero abantu gye bakyetaaga ekiseera kyonna.

Yategeezezza nti omwaka guno balina enteekateeka ey’okwongeza ku emirundi ekisaakaate gye kibeerayo kisobozese abaana bangi mu bitundu bya Buganda okukiganyulwamu.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yagambye nti ekisaakaate eky’omwaka guno okwesigama ku mulamwa
gw’obwesimbu kintu kikulu mu kutwala Buganda mu maaso.

Yategeezezza nti Nnaabagereka n’abategesi b’ekisaakaate balina omutima ogulumirirwa abaana b’eggwanga okubaako we batuuka mu nkulaakulana n’abasiima n’obuteefaako bokka.

 

Nnaabagereka ng'asala keeki n'abasakaate, amuddiridde mu gomesi ye mulamuzi Julia Ssebutinde, Omumbejja Ssangalyambogo, Margaret Mayiga mukyala wa Katikkiro ate minisita Muyingo

“Abaana tubafuule bitooke, betaaga okusalira era kati ggwe omuzadde eyaleese omwana womu kisaakaate, omusalidde, ayinze ebintu bingi ok’uva ku buntubulamu, okukola emirimu n’okumanya ennono y’Oluganda n’Obuganda kyokka ng’ababangula temubawadde ssente nnyingi,” Mayiga bwe yategeezezza.

Omulamuzi wa kkooti y’ensi yonna, Julia Nassanga Ssebutinde yasomesezza abasaakaate, abazadde
baabwe n’abakungu abalala abeetabye ku mukolo empagi ezikola obwesimbu ze yagambye nti ssinga
bazikwata bulungi eggwanga Uganda lijja kuyitimuka.

Yanokoddeyo ey’obuntubulamu, enneeyisa, empisa, enjogera, ennyambala, eggonjebwa, obuwulize, obwetowaze, obwesigwa n’ebirala bingi.

Era n’alabula ku mize omuli enkuza embi ey’abaana, ebiduula, omululu gw’eby’enfuna, obuyaaye, obulyake n’omulugube gw’ensimbi ebitta obuntubulamu n’okuzing’amya eggwanga.

Nnaabagereka aggaddewo ekisaakaate

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...