TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Buganda Land Board erangiridde enteekateeka z'ebyettaka mu 2014

Buganda Land Board erangiridde enteekateeka z'ebyettaka mu 2014

Added 3rd February 2014

EKITONGOLE Kya Kabaka eky’ebyettaka Buganda Land Board kirangiridde enteekateeka yaakyo eya 2014 mwe kigenda okuyita okulambika abantu abali ku ttaka ly’embuga z’amagombolola emiruka, ebitongole n’eddala lyonna okumanya Mukama waabwe.



Bya Lilian Nalubega
EKITONGOLE Kya Kabaka eky’ebyettaka Buganda Land Board kirangiridde enteekateeka yaakyo eya 2014 mwe kigenda okuyita okulambika abantu abali ku ttaka ly’embuga z’amagombolola emiruka, ebitongole n’eddala lyonna okumanya Mukama waabwe.

Abakulembeze b’ebitongole eby’enjawulo mu BLB baatudde mu lusirika olw’amaze olunaku lulamba ku Namirembe Guest House e Mmengo mwe baatemedde empenda ku ngeri gye bagenda okutuukamu mu bantu okubasomesa ku nkola zaabwe ezitali zimu okusobola okutereeza empeereza yaabwe omwaka guno etuukane n’omutindo gwe beetaaga.

Omwogezi wa BLB, Abby Ntambi yategeezezza nti ebimu ku byatuukiddwaako kwe kulaba ng’abakungu ba BLB batandika enkola ey’okutuuka ku bantu yonna mu bitundu gye bali bakole ku nsonga zaabwe awatali kubalwisa nga muno baasazeewo n’okutandikawo amatabi g’ekitongole kino amalala ga mirundi esatu omwaka guno ng’erimu lyakubeera mu Buddu Masaka ate eddala mu bitundu bya Luweero.

Yategeezezza nti ettaka ly’obwakabaka lyonna omuli ery’embiri, amasiro, ery’Obwannaalinnya ba Namasole n’abantu abalala bonna abennono lyazziddwa mu kitongole kino nga kye kigenda okutwala abo bonna bannyiniryo n’okulitetenkanyiza engeri gye lijja okukulaakulanyizibwamu nga bakolaganira wamu ne bannannyini bitongole mwe ligwa.

Ekitongole era kitaddewo ebbaluwa entongole egenda okukozesebwanga bonna abali ku ttaka ly’Obwa-kabaka mu kutunda oba okugula n’okuwaanyisiganya obusenze ng’eno yokka y’ejjanga okukkirizibwa mu kitongole kya BLB n’okusobola okukakasa omuntu yenna aba alisenzeeko.

Waliwo n’enkola empya mwe bagenda okuyita okusobozesa abantu okussa mu nkola ebiragiro n’emitendera gye balina okugoberera nga bakulaakulanya ettaka ly’Obwakabaka omuli n’okubakubiriza okuzimbira ku pulaani ezinaabanga zisembeddwa abavunaanyizbwa ku ttaka eryo.

 

 


Abantu abali ku ttaka ly’embuga z’amagombolola emiruka n’amasaza n’eryo lyonna Gavumenti lye yakomyawo mu ndagaano gye yakola ne Kabaka omwaka oguwedde, bagenda kusomesebwa ku ngeri gye bagenda okutereezaamu obusenze bwabwe bwe baba nga baagala okusigalako nga bamanyiddwa era ng’ekitongole kyataddewo enkola mwe bagenda okuyita okutandikanga okusasula emisoso gyabwe gyonna eri Kabaka nga nnannyini ttaka kwe bali.
Kyewalabye Male yakikkaatirizza nti tewali ngeri ekitongole kino gye kigenda okutuuka ku bigendererwa byakyo nga kiweereza abantu nga kibeesambye era n’ategeeza nti ky’ekiseera okulaba ng’abantu yonna gye bali bafuna empeereza ya BLB mu budde obutuufu awatali kujula.

Buganda Land Board erangiridde enteekateeka z’ebyettaka mu 2014

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeero eyakwatiddwa ne mukyala we.

Bakutte bana abatunda eddag...

ABANTU 4 okuli n’omusawo w'ebisolo bakwatiddwa mu kikwekweto ky’okufuuza abatunda eddagala ly’ebisolo ery'ebicupuli...

Omuserikale ng'ayingiza Mabaale  mu kaduukulu.

Eyateeze muliraanwa n'amute...

POLIISI y’e Mpigi ekutte omutuuze n’emuggalira lwa kukakkana ku muliraanwa we n’amutema ejjambiya ku nsingo n’ekigendererwa...

Asooka ku kkono ye mumyuka w'akulira yunivasite ya UCU, Prof. Aaron  Mushengyezi ate asooka (ku ddyo) ye Ndyanabo.

Vision Group enywezezza enk...

YUNIVASITE ya Uganda Christian University eyongedde okunyweza enkolagana yaayo ne Vision Group. Enkolagana eno...

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...