TOP

Oweggombolola y'omukulu w'ekibuga ayimiriziddwa

Added 5th March 2014

MMENGO eyimirizza abadde omwami wa Kabaka ow’eggombolola y’omukulu w’ekibuga e Lubaga, Muky. Edith Nambagire (waggulu) olw’obutatuukiriza bulungi mirimu gye.Bya ANTHONY SSEMPEREZA ne DICKSON KULUMBA
MMENGO eyimirizza abadde omwami wa Kabaka ow’eggombolola y’omukulu w’ekibuga e Lubaga, Muky. Edith Nambagire (waggulu) olw’obutatuukiriza bulungi mirimu gye.

Ebbaluwa eyayimirizza Muky. Nambagire yateereddwaako omukono gwa minisita avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu era Ssaabawolereza wa gavumenti ya Buganda, David Mpanga nga kkopi eno yaweereddwaako ne Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Wabula Nambagire yategeezezza nti yeewuunyizza okuyimirizibwa kubanga emirimu egyamuweebwa Kabaka abadde agikola bulungi era alina obujulizi obulaga nti emirundi mingi alemesezza abantu ababadde bagezaako okukumpanya ettaka lya Kabaka.

Bino byonna biddiridde ebigambibwa nti ettaka lya ggombolola ya Kabaka e Lubaga lyatundibwa mu ngeri etategeerekeka nti era n’ettaka ly’e Kakeeka lyatundibwako ekitundu mu bukyamu.

Mu kiseera kino ettaka lino likolerwako abavubuka abaateekako pulojekiti z’okweggya mu bwavu. Omwogezi wa Buganda Land Board, Abel Ntambi yannyonnyodde nti ettaka ly’e Kakeeka liri wansi wa Buganda Land Board era okusinziira ku ky’amanyi, teritundibwa era bwe wabaawo alina ekiwandiiko kyonna ekiraga nti yagula, yagula mpewo.

Maneja wa Buganda Land Board, Bashir Kizito yagambye nti ettaka lino tewali nteekateeka za kulitunda era singa waliwo omuntu yenna alina ekiwandiiko ekiraga nti yagula, yagula mpewo.

Ettaka ly’e Kakeeka, Kabaka yaliwaayo lizimbibweko ettendekero lya Buganda Royal Business and Technical Education.

Oweggombolola y’omukulu w’ekibuga ayimiriziddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu