TOP

Pulogulaamu y'okutuuza Abaamasaza efulumye

Added 1st July 2014

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye abaami b’amasaza bonna 13 abatannatuuzibwa mu butongole, batuuzibwe ng’omwaka guno tegunnaggwaako ng’omu ku kaweefube w’okwongera amaanyi mu nzirukanya y’emirimu mu masaza gano.



Bya DICKSON KULUMBA


KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye abaami b’amasaza bonna 13 abatannatuuzibwa mu butongole, batuuzibwe ng’omwaka guno tegunnaggwaako ng’omu ku kaweefube w’okwongera amaanyi mu nzirukanya y’emirimu mu masaza gano.

Ku baamasaza abagenda okutuuzibwa kuliko; Mbuubi (Buvuma), Ssebwana ( Busiro), Pookino (Buddu), Mukwenda (Ssingo), Kangaawo ( Bulemeezi), Kasujju (Busujju), Ssekiboobo (Kyaggwe), Kaggo ( Kyaddondo), Kitunzi (Gomba), Katambala (Butambala), Kimbugwe ( Buluuli) ne Kweba (Ssese).

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki yategeezezza nti emikolo gino gyakutandika July 8, 2014 nga Ssebwana Charles Kiberu Kisiriza y’agenda okutuuzibwa ku mbuga y’essaza ly’e Busiro e Ssentema.

Pokino Vicent Mayiga Ssebowa atuuzibwa nga July 9, Mukwenda Abubakar Magala July 10, Kangaawo Freddie Ntege Ssekamere July 11 e Bbowa ate Kasujju Jjingo Mark Byekwaso Kaberenge II wa July 15.

Ssekiboobo Alex Kigongo waakutuzibwa July 16 e Mukono, Kaggo Patrick Luwagga Mugumbule abeere wa July 17, 2014, Kitunzi Jackson Musisi atuuzibwe July 22 e Kanoni, Katambala Twaha Lwanyaga wa July 24 e Kabasanda.

Kabaka era yasiimye okutuuza Muteesa Felix Nsamba Kabajjo e Sembabule nga July 31 bw’aliba ajaguza amatikkira aga 21. Ate ye Fr. Christopher Walusimbi waakutuuzibwa September 18 e Kalangala.

Nga October 21 Mbuubi Patrick Nsubuga Kirumbalumba waakutuuzibwa ku mbuga y’essaza e Maggyo olwo Kimbugwe Gerald Kyanjo atuuzibwe December 10,2014 e Nakasongola.

Emikolo gyonna gyakutandika ku ssaawa 4.00 nga gyakukolebwa Katikkiro Charles Peter Mayiga wabula Kawuki yannyonnyodde Bukedde nti abaami abalala batuuzibwa dda okuli okuli Kamuswaga ( Kooki), ate Kabaka yasiima n’atuuza Mugerere ne Luweekula. Mayiga yatuuza Lumaama ne Kayima.

Abaami bano balangirirwa ku bukulu buno nga December 20, 2013 era ne bakwasibwa ofiisi ku ntandikwa y’omwaka guno era bagenze mu maaso n’okukola emirimu egy’enjawulo.

OKUTUUZIBWA KYE KI?
Guno gubeera mukolo gwa buwangwa okubeera Katikkiro okukwasa omwami effumu, engabo, omuggo, okumwambaza ekyambalo ky’obwami era oluvannyuma omubala gw’essaza ne guvuga. Nga Katikkiro atuuka eng’oma y’essaza evuga.

ENSONGA ZE BAAGALA MINISITULE EKOLEKO:
Agava mu nkambi y’abaamasaza gagamba nti abaami baasabye okufiibwako naddala ku nsonga y’entambula kubanga bangi bakaluubirizibwa mu kutalaaga ebitundu byabwe n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’enjawulo mu budde.

Bagala wateekebwewo n’ensawo ebasobozesa okutambuza emirimu egy’enjawulo mu bitundu byabwe omuli n’ezitandika pulojekiti.

 

 

Pulogulaamu y’okutuuza Abaamasaza efulumye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...